Katemba abadde ku kyalo Nabutiti e Kansanga mu Divizoni y’e Makindye East, omukyala agambibwa okuba omutuunzi w’akaboozi, bw’akubye omulaanga olw’abasajja okumukozesa ne bagaana okumusasula.

Omukyala ono, agamba nti ye Vicky era wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti yakkiriza yakkiriza okusinda omukwano n’abasajja 2 bakasitoma omulundi gumu, ku ssaawa nga 8 ezekiro kyokka olw’azze, bazze mu kwebuzabuza.

Vicky agamba nti bakasitoma be, oluvanyuma lw’okusiima nti musufu mu nsonga z’omu Kisenge, bamututte eri mukwano gwe, ne badduka nga tebamuwadde wadde 100.

Ekimuggye mu mbeera, okutabuka ye musajja mukwano gwa bali abamukozeseza, okumukwatirira nga naye, ayagala ku mulambuza ebyalo ate ng’ebitundu by’ekyama bikyali bikoowu.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/05/Malaya-Cry-Final.mp3
Eddoboozi lya Vicky
Related Stories
GIWUNYE! Ebya Bryan White byonoonese, balagidde akwatibwe ate mu bwangu lwa kuzannyira mu vuvuzera z’abaana

Palamenti ezzeemu okulagira ebitongole ebikuuma ddembe okunoonya Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White akwattibwe ku Read more

Vicious LRA Commander Ogwen Handed 25 yrs In Jail

The International Criminal Court (ICC) at the Hague sentenced the former Lord's Resistance Army- LRA Read more

Oluvanyuma lwembeera okutabuka, Baneyiba bekozeemu omulimu era banoonya ssente emitwalo 3 ne baziwa Vicky nagenda, okusobola okuzza embeera mu nteko.

Ate Poliisi y’e Nansana eriko omusajja gw’ekutte ku misango gy’okudda ku baana abato okubasobyako oluvanyuma lw’okubawa omwenge.

Mpanga Moses Aldo amanyikiddwa nga Kakooza Moses eyali omusomesa ku Step by step primary school e Nansana yakwattiddwa ku by’okusobya ku baana mukaaga (6) wakati w’emyaka 12 – 15 wakati wa 2019 – 2020.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agambye nti wadde Mpaga akuumibwa ku Poliisi y’e Nansana, agaanye okuvaamu ekigambo kyonna, okusobola okuyamba Poliisi okufuna amawulire n’okuzuula emyaka gye.

Poliisi egamba nti wadde Mpaga agaanye okuvaamu ekigambo, okunoonyereza kutandiise.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/05/Luke-Aldo.mp3
Eddoboozi lya Luke

Mungeri y’emu ekiyongobero kibuutikidde abayizi ku Metropolitan International University e Namungoona mu Kampala, omusirikale omukuumi wa LDU bw’akubye omu ku bayizi amasasi agamuttiddewo, ku bigambibwa nti abadde yenyigidde mu kubba Kompyuta.

Ali Matovu ye muyizi attiddwa ku ssaawa ng’emu ez’okumakya ng’abadde asoma busomesa era abadde yakayingira yunivasite.

Abamu ku bayizi, bagamba nti Matovu abadde akedde kumakya okutuula ‘Test’ ng’aweese ensawo wabula okuyingira mu kizimbe kya Kompyuta nafulumamu, kiteeberezebwa nti y’emu ku nsonga lwaki owa LDU, amuteebereza okubba Kompyuta, namukuba.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/05/Abayizi-One-Final.mp3
Eddoboozi ly’abayizi

Ku nsonga ezo, ebitongole ebikuuma ddembe bitandiise okunoonyereza okuzuula ekivuddeko owa LDU okutta Omuyizi.