Abasawo mu ggwanga erya Morocco bakyawuninkiridde olw’omukyala munnansi wa Mali myaka 25 okuzaala abaana 9.

Omukyala ono Halima Cisse yazadde akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo abawala bataano (5) n’abalenzi bana (4) nga yazaalidde mu ggwanga erya Morocco.

Okusinzira ku Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga erya Mali Dr. Fanta Siby, Halima yalongoseddwa.

Minisita agamba nti maama n’abaana bali mu mbeera nungi.

Halima yabadde asuubira okuzaala abaana musanvu (7) okusinzira ku sikaani zeyakola mu ggwanga erya Mali ne Morocco wabula abaana babiri (2) baali bekweka mu banaabwe nga kizibu nnyo sikaani okubalaba.

Related Stories
‘Go & Organize Miss Curvy Competitions’…Nambooze Blasts Kiwanda As Sevo Kicks Him Out

'You Go & Organize Your Miss Curvy Competitions'…Nambooze Blasts Kiwanda As Sevo Kicks Him Out Read more

Mu kiseera kino abasawo n’abantu babuligyo abasamusaamu omuli n’abakulembeze, bakkiriziddwa, okutuuka mu ddwaaliro okulaba ku mukyala eyazadde abaana 9 era mu kiseera kino afuuse kyabulambuzi.