Eyali omuduumizi w’abayeekera ba Lord’s Resistance Army-LRA abakulirwa Joseph Kony, Dominic Ongwen, kkooti y’ensi yonna emusibye emyaka 25.

Ongwen gye buvuddeko ku myaka 45 yasingisibwa emisango 61 omuli okusobya ku baana abato, abakyala, okuyingiza abaana abato obutujju, okutta abantu, okutulugunya n’okutyoboola eddembe ly’obuntu.

Emisango yagiza wakati 2002 ne 2005 mambuka ga Uganda ku byalo okuli Lukodi, Pajule ssaako n’ebitundu ebirala.

Wabula mu kkooti, y’ensi yonna etuula mu kibuga Hague ekya Budaaki, emisana ga leero, abalamuzi basatu (3) nga bakulembeddwamu Bertam Schmitt basibye Dominic Ongwen emyaka 25.

Bano bagamba nti emyaka 25, egimuwereddwa, kigendereddwamu okutangira abantu abalala abayinza okwenyigira mu bikolwa bye bimu.

Abalamuzi abalala kubaddeko Peter Kouvacs ne Raul Cano Pangalangan.

Wabula omulamuzi Raul abadde ayagala Ongwen asibwe emyaka 30 olw’ebikolobero bye yakola.

Mu kiseera kino, bali mu kunoonya nsi eri wansi wa kkooti yensi yonna, gye bayinza okumusibira.

Kabinenti mu ggwanga erya Rwanda eyisizza ekiteeso ekikakanya ku bukwakulizo obwatekebwawo wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Essaawa za Kafyu zengezeddwawo obudde okudda ku ssaawa 4 ez’ekiro, nga kikoleddwa abantu okweyongera okutambuza emirimu gyabwe obudde obuwanvuko.

Mu ngeri y’emu ggiimu ziguddwawo kyokka abantu balabuddwa okwetangira Covid-19 wakati mu dduyiro ne banaabwe.

Kabinenti egamba nti Covid-19 okweyongera okukendera mu ggwanga y’emu ku nsonga lwaki bakanyiza okudiriza mu bukwakulizo.

Ebivvulu bisigadde bikyali biggale ssaako n’okulagira abantu okweyongera okwambala masiki.

Rwanda mu kiseera kino yakazuula abalwadde 25,421, yakafiisa abantu 338 ate mu ddwaaliro balina omulwadde omu akyali mu mbeera embi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/214935263429487