Bamalaaya abegatira mu kibiina kyabwe ekya WONETHA bawanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino era ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni, obutageza kuteeka mukono ku bbago erigendereddwamu okulwanyisa Obuseegu, okulambika ku kunyumya akaboozi ssaako n’okukabasanya abakyala.

Ebbago lino eryayisiddwa Palamenti erya Sexual offenses bill 2019 ligendereddwamu abakyala okuyambibwa singa basobezebwako era ssinga litekebwako omukono, lyakusiba abasajja abakabasanja abakyala, abakyala aboolesa obuseegu nga bayise mu nnyambala, okutangira abantu okumansa ebigambo eby’obuseegu ssaako n’emisango emirala.

Mu bbago, omukyala ne bw’aba akkirizza okunyumya akaboozi, omusajja yenna tekikweyinuza, kuba waddembe okwekyusa n’agaana ekiseera kyonna nga temunnaba kutandika mikolo ne bwe mubeera muli mu kikolwa kyennyini, asobola okukyusa endowooza ye.

Ssinga munno akugamba nti seewulira bulungi wakati mu kikolwa tukome awo, ne weefuula nnampulira zzibi n’oyagala okukyusa ekiwato okusooka okumalamu akagoba obeera oyolekedde okuggulwako omusango gw’okusobya ku mukazi.

Ekibonerezo ekisembayo ku muntu asobezza ku mukazi kya kusibwa mayisa ssinga gukukka mu vvi.

Kyokka ssinga kizuulwa ng’eyasobezza alina obulwadde bwa mukenenya, yasobezeddwaako nga mukadde oba ng’aliko obulemu, nga baamusobezzaako kirindi, ekibonerezo kibeera kya kuwanikibwa ku kalabba.

Bino bye bimu ku biri mu bbago ly’etteeka erikwata ku by’okwegatta n’okulwanyisa obuseegu erya ‘Sexual offences Bill, 2019.

Wabula abakyala abasamba ogw’ensimbi (Bamalaaya), bagamba nti emirimu gyabwe balina okwolesa emibiri, okusobola okufuna abaguzi nga singa ebbago liteekebwako omukono, Pulezidenti Museveni, kiyinza okutabangula emirimu gyabwe.

Abakyala bano, balina okutya nti singa ebbago lifuuka etteka, ebitongole ebikuuma ddembe byolekedde okweyongera okutyoboola eddembe lyabwe n’okubalemesa okunoonya 100 ate nga balina okuleenga emmaali, bakasitoma okugiraba era bayinza n’okulemesa Bakasitoma okuggya okulamuza, okunoonya essanyu ly’oku nsi.

Ssenkulu w’ekibiina kyabwe Diana Natukunda, agamba nti n’okwekebeza endwadde ez’obukaba kigenda kukendera ssaako n’okulemwa okuvaayo okulwanirira eddembe lyabwe.

Ate ekibiina ky’obwanakyewa ekikola ku ddembe ly’abakyala ekya Alliance of Women Advocating for Change, bagamba nti Palamenti yalemeddwa okubebuzaako wakati nga bayisa ebbago eryo.

Bano nga bakulembeddwamu Macklean Kyomya, bagamba nti bakooye okuyisa ebintu ebinyigiriza abakyala, era batandiise okunoonyereza okuzuula ensonga enkulu lwaki ebbago lyayisiddwa.

Okufuna ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/492877408690768