Bannakibiina ki National Unity Platform–NUP balangiridde, okweyambisa olunnaku olw’enkya ku Lwokusatu okusabira eggwanga ssaako n’okusiiba mu kiseera nga ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni alayizibwa, okuddamu okulembera eggwanga lino ekisanja ekyomukaaga.
Mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe e Kamwokya, omwogezi w’ekibiina Joel Ssenyonyi, agamye nti eggwanga, lyetaaga Omutonzi okuvunuka okusoomozebwa okusukkiridde omuli okutyoboola eddembe ly’obuntu, abantu okuttibwa ssaako n’obukulembeze obutawa ssuubi.

Wakati mu kusiiba n’okusabira eggwanga, aba NUP bagenda kwambala Bulaaka okulaga nti bakungubaga nga aba NRM, bali mu kusanyuka olw’omuntu waabwe, okuddamu okwasibwa obuyinza okulembera eggwanga, emyaka 5.
Ate nga wasigadde ssaawa mbale ssentebe w’ekibiina ki NRM Yoweri Museveni okulayira, okuddamu okulembera eggwanga lino, nate Poliisi eriko abantu bekutte 22 ku misango gy’okuyingira mu ggwanga mu ngeri emenya amateeka.
Abakwate kuliko bannansi ba Rwanda 14 ssaako ne Congo 8 nga bakwattiddwa Poliisi y’e Kabale.

Bonna, tebasangiddwa na kiwandiiko kyonna nga bali mu kwetekateeka okulinya bbaasi okuyingira Kampala era nga bali mu bbaasi ez’enjawulo, nga kigambibwa okuyingira Uganda bayitidde mu Panya.
Ku Poliisi, bagamba nti okunoonya emirimu, y’emu ku nsonga lwaki bayingidde Uganda mu ngeri emenya amateeka.
Wabula Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza, okuzuula ekituufu, ekyabaleese mu Uganda.
Ate ekitongole ky’amaggye, kyongedde okulabula abantu sekinoomu n’okusingira ddala abavubuka, abasuubira okutabangula emikolo gy’okulayiza omukulembeze w’eggwanga olunnaku olw’enkya.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi w’amaggye Col Deo Akiki, ebyokwerinda byongedde okunywezebwa era abasuubira okutabangula ebyokwerinda teri ku battira ku Liiso.
Akiki mu ngeri y’emu agambye nti Pulezidenti wekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) aweereddwa ebyokwerinda mu ngeri ey’enjawulo.
Agamba nti Bannayuganda balina okusanyusa olwa Kyagulanyi okuweebwa ebyokwerinda, ekiraga nti muntu wanjawulo ku balala.
Kyagulanyi yali omu ku bantu 11 abavuganya ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 14, Janwali, 2021 kyokka ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni yaddamu okuwangula
Okufuna ebirala mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/253182826592554