Sisobola kumyuka Pulezidenti Museveni nze njagala bwa sipiika bwange, Kadaga alemeddeko, naye gwe olowooza alina ensonga?

Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga alangiridde nti tasobola kukkiriza kifo kya kumyuka Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Kadaga yazzeemu okwesimbawo ku kya Sipiika wa Palamenti era agamba nti tewali muntu yenna ayinza kumusindikiriza kuva mu lwokaano.

Mu kiseera kino ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) tekinnaba kusalawo ani agwanidde obwa sipiika, ekyongedde okuteekawo okusika omuguwa wakati w’ekibiina ssaako n’abo abegwanyiza obwa sipiika.

Sipiika Kadaga ne Yoweri Museveni

Wabula Kadaga agamba nti wadde waliwo abamusaba okwesonyiwa obwa sipiika, Pulezidenti Museveni amuwe okumyuka Pulezidenti, agamba nti tasobola kukikirizza.

Agamba nti sipiika, ye mukulembeze ow’oku ntikko mu Palamenti era y’emu ku nsonga lwaki abadde alina okuddamu okwesimbawo kyokka singa okumyuka Pulezidenti, olina okuba ne mukama wo (Pulezidenti).

Eddoboozi lya Kadaga

Kadaga bwe yabadde asisinkanyeko ababaka ba Palamenti abalonde okuva mu bitundu bya Busoga ku Hotel Africana mu Kampala akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Ssande, yagambye nti yetaaga ekifo ekirina enkizo okusalawo ku bigenda mu maaso mu ggwanga nga sipiika wa Palamenti kyokka okumyuka Pulezidenti tekirina makulu wadde okusalawo ku nsonga yonna mu ggwanga.

Ate ababaka ba Palamenti okuva mu Busoga nga bakulembeddwamu owe Iganga municipality Peter Mugema Panado ne Stephen Kisa owe Luuka south, bagamba nti ababaka ba Palamenti okuva e Busoga tebetaaga kya kumyuka Pulezidenti, balina kusigaza kya Sipiika era Kadaga ye mukulembeze agwanidde okulembera Palamenti.

Abalala abegwanyiza obwa sipiika bwa Palamenti kuliko abadde amyuka Kadaga ku bwa sipiika Jacob Oulanyah, omubaka we Kira mu Palamenti Ibrahim Ssemujju Nganda okuva mu kibiina ki  Forum for Democratic Change (FDC) era Nampala w’oludda oluvuganya mu Palamenti n’omubaka we Bukoto central owa Democratic Party (DP) Richard Ssebamala.

Sipiika Kadaga, Pulezidenti Museveni ne Jacob Oulanyah

Okusinzira ku nsonda ezesigika, olunnaku olwaleero ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Pulezidenti Museveni agenda kusisinkana Sipiika Kadaga n’omumyuka we Oulanyah ku nsonga y’okunoonya sipiika wa Palamenti agenda okuddako.

Oulanyah agamba nti akakiiko ka NRM akafuzi ak’oku ntikko (CEC) kalina okutuula, okusalawo omuntu omuntu agwanidde okuba sipiika wa Palamenti.

Mu kiseera kino Edward Kiwanuka Ssekandi myaka 79 yamyuka Pulezidenti Museveni.

Okumanya ebisingawo! https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1097434650735735