Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okuba ow’enkizo ate nga muntu wanjawulo mu ggwanga lino Uganda, y’emu ku nsonga lwaki ebitongole ebyokwerinda omuli Poliisi n’amaggye byongedde okunyweza ebyokwerinda mu makaage e Magere ssaako n’abakesi okwongera okumutambulirako.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi w’amaggye mu ggwanga Col. Deo Akiki, Bannayuganda balina okusanyusa olwa Kyagulanyi okuweebwa ebyokwerinda, ekiraga nti muntu wanjawulo ku balala.
Kyagulanyi yali omu ku bantu 11 abavuganya ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 14, Janwali, 2021 kyokka ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni yaddamu okuwangula obukulembeze ekisanja eky’omukaaga.

Museveni agenda kulayizibwa olunnaku olw’enkya ku Lwokusatu nga 12, May, 2021 nga Pulezidenti wa Uganda mu kisaawe e Kololo era Bobi Wine y’omu ku bagenyi abaayitiddwa.
Mu kiseera kino Poliisi n’amaggye beyongedde mu bitundu bye Magere okwongera okunyweza ebyokwerinda n’okutangira omuntu yenna ayinza okutabangula okulayira kwa Pulezidenti.
Wadde aweereddwa ebyokwerinda, abamu ku bannakibiina ki NUP banyivu nnyo nga bagamba nti bakooye Gavumenti ya Pulezidenti Museveni okutyoboola eddembe lya Bobi Wine kuba okuteeka Poliisi n’amaggye mu makaage, kigendereddwamu kumulemesa kutambula.
Mungeri y’emu ekitongole kya Poliisi kikutte abantu 41 nga balina Pulogulamu y’okutabangula okulayira kwa Pulezidenti Museveni olunnaku olw’enkya.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abakwate bagiddwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo era essaawa yonna bagenda kubatwala mu kkooti.
Enanga agamba nti ebitongole ebikuuma ddembe byongedde okwetekateeka okwenganga buli muntu yenna alina ekirooto ky’okutabangula omukolo.
Mungeri y’emu alabudde abavubuka okwegendereza abantu abayinza okubakozesa ensobi ate singa bakwatibwa ne batwalibwa mu kkooti, tebayinza kubayamba.
Okulayira, Gavumenti esuubira okweyambisa ssente Biriyoni ezisukka 7, okusobola okutekateeka omukolo omulungi.

Omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo agamba nti ssente balina okuzeyambisa okunyweza ebyokwerinda mu ggwanga lyonna kuba basuubira abagenyi okuva mu nsi ez’enjawulo n’okusingira ddala abakulembeze b’ensi mu Africa.
Mungeri y’emu agamba nti balina okutambuza abagenyi, okubaliisa, abamu okubasuza ate wano mu Uganda abayitiddwa, balina okuweebwa amafuta.
Ku mukolo, Gavumenti esuubira abagenyi abasukka mu 4,000 ate bonna balina kaadi eziraga nti baayitiddwa.
Poliisi egamba nti omuntu yenna nga teyayitiddwa, gwe banasaanga e Kololo, tewali kumuttira ku liiso wabula okukwattibwa abitebye.
Okufuna ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/548619926525943