Eyali mukyala w’omukulembeze w’eggwanga erya Zimbabwe Grace Mugabe ayitiddwa okwewozaako ku misango gy’okuzimuula ennono mu kuziika bba Robert Mugabe.

Kigambibwa Grace Mugabe yazimuula Famire ne baziika Mugabe mu kifo ekikyamu ate ne balemwa okuteeka mu nkola ennono.

Okusinzira ku bbaluwa eteekeddwako omukono gw’akulira ekika kya Zvimba, Grace Mugabe ayitiddwa okutekateeka okuzikula Mugabe okuddamu okuziikibwa nga bateeka mu nkola ennono n’okuziikibwa mu kifo ekituufu, ekyakanyizibwako famire ssaako ne nnyina.

Mungeri y’emu asabiddwa okuwa engasi y’ente n’embuzzi olw’okuzimuula ennono n’abakulembeze baganda b’omugenzi.

Mugabe yafa mu 2019 mu ddwaaliro mu ggwanga erya Singapore ku myaka 95.

Related Stories
ENSI ENO! Kyaddaki abasawo boogedde amazima ku bulamu bwa Christian Eriksen, abazannyi ba Denmark bibasobedde

Christian Eriksen ayinza obutaddamu kusamba mupiira mu bulamu bwe n'eggwanga lya Italy okumuwera okuddamu okusambira Read more

Wadde yaziikibwa mu bitundu bye Kutama mu disitulikiti y’e Zvimba, waliwo okusika omuguwa wakati wan Famire, Gavumenti ssaako n’omukyala w’omugenzi Grace Mugabe n’okutuusa olunnaku olwaleero.

Grace Mugabe myaka 55 tannaba kwanukula ku bbaluwa emuwandikiddwa.

Omugenzi yakulembera Zimbabwe okuva 1987 okutuusa 2017 nga yakulungula mu ntebe emyaka 30.

Ate okudda wano mu Uganda, Ekiyongobero kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kyamagwa mu kibuga kye Jinja, abaana 2 webasangiddwa nga bafiiridde mu nnyumba.

Abafudde kuliko Hailat Nakiyemba myaka 4 ne Rahmat Namugumya ali mu gy’obukulu 14 ate jjajaabwe Afuwa Alitubera, asangiddwa ng’ali mu mbeera mbi.

Abatuuze nga bakulembeddwamu Juma Musonge, abagamba nti akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, abagenzi bayingidde mu nnyumba ne jjajaabwe ne badda mu kalirira ennyama, ey’okulya Eid ya leero.

Kigambibwa, omukka gwasanikidde ennyumba, abaana bafudde nga kivudde ku kiziyiro ssaako ne jjajaabwe, okusangibwa ng’ali mu mbeera mbi ku ssaawa nga 9 ez’okumakya.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira, Abbey Ngako, emirambo gy’abaana gitwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Jinja okwekebejjebwa nga ne jjajjaabwe atwaliddwa mu ddwaaliro lya Almeca okutaasa obulamu.

Poliisi efulumizza alipoota ku kikwekweeto ekyakoleddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu ku Pikipiki okusangibwa nga zikyali ku kkubo, okusukka essaawa 12 ez’akawungeezi.

Luke

Mu Kampala n’emirirwano, Pikipiki 500 zakwattiddwa era amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agamba nti, okugyemera omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ne basigala nga bavuga okusukka ezo 12 wakati mu kulwanyisa Covid-19, y’emu ku nsonga lwaki zaakwatiddwa.
Mu nnaku 2 omuli ku Lwokubiri ne Lwokusatu, Poliisi ekutte Pikipiki 1700.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/234233801795694