Libadde ssanyu gyereere nga ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni alayizibwa, okuddamu okulembera eggwanga lino ekisanja eky’omukaaga, ku mikolo egibadde mu kisaawe e Kololo.

Museveni abadde annekedde mu ssuuti enzirugavu ssaako n’ekikofiira ku mutwe ng’ali ne kabiite we Kataaha Museveni, atuuse ku mikolo wakati mu byokwerinda nga zigenda mu ssaawa 5 ez’okumakya era emikolo gy’okumulayiza, gikulembeddwamu Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo oluvanyuma lwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Omulamuzi Simon Byabakama okuddamu okutegeeza eggwanga nti Museveni yawangula okulonda, okwaliwo nga 14, Janwali, 2021.

YKM alayidde

Mu kulayira, Museveni asuubiza okwongera okuuma ssemakateeka, eggwanga ne bannayuganda n’okuteeka mu nkola emirimu gy’omukulembeze w’eggwanga.

Ebirayiro bitutte eddakiika ttaano era ku Ssaawa 5:50 zennyini ez’okumakya, Ssaabalamuzi Owiny-Dollo akwasizza Museveni ebintu ebikola obuyinza n’okulaga nti ye mukulembeze w’eggwanga omuggya omuli bendera y’eggwanga, bendera ey’Obwapulezidenti, Oluyimba lw’eggwanga, Akabonero k’eggwanga ssaako ne Ssiiru y’eggwanga.

Oluvanyuma n’omuduumizi w’amaggye, Gen. David Muhoozi akwasizza Pulezidenti Museveni Ekitala n’Engabo ng’akabonero akalaga nti yakulembera amaggye mu ggwanga.

Pulezidenti olukwasiddwa obuyinza, bamukubidde emizinga 21 ssaako n’okulambula amaggye wakati mu mu bbandi y’amagye, Poliisi n’Ekitongole ky’Amakomero.

YKM ku kisaawe e Kololo

Bw’abadde ayogerako eri eggwanga, asuubiza ebintu ebyenjawulo nga byonna bigendereddwamu, okulakulanya eggwanga ssaako n’abantu bonna.

Pulezidenti asuubiza okwongera okuteeka amaanyi mu kulwanyisa obuli bw’enguzi, okuteeka amaanyi mu nkola ya bonna basomesa nga tewali muyizi yenna agibwako wadde 100, okujanjaba abantu ku bwereere ssaako n’okulwanyisa ekibba ttaka.

Mungeri y’emu n’ensonga y’okwongera okunyweza ebyokwerinda, bannayuganda abagumiza, okwongera mu kuteeka ssente mu kulongoosa enguudo, okulwanyisa obwavu, ekiwadde bannayuganda essanyu.

Mu kwongera okuyimusa embeera z’abantu, Museveni asuubiza okwongera okulakulanya abantu b’omu Ghetto, abantu bonna abaludde nga benyigira mu kubba ensimbi zaabwe, agenda kubalwanyisa.

Agamba nti waliwo n’abakulembeze abaludde nga benyigira mu kubuzabuza abantu b’omu Ghetto, baasobodde okusembeza, okutambulira awamu ku nsonga ezibanyigiriza.

Ate ku nsonga y’okulwanyisa Covid-19, Museveni asuubiza okuggyawo omuggalo singa bannayuganda obukadde 4,800,000 bagemebwa omuli abakadde abasusizza emyaka 50, abasomesa, abasawo ssaako abasirikale.

Okulayira kwetabiddwako abantu abasukka 4,000 omuli abakulembeze b’ensi, abakungu ab’enjawulo, baminisita, abakiise ba Palamenti, bannadiini ssaako n’abantu babuligyo abasamusaamu.

Newankubadde Museveni alayidde era kiwadde essanyu bannakibiina ki NRM, bangi ku bannakampala basigadde banyivu olw’ebitongole ebikuuma ddembe okubalemesa okutambula ne baggala amakkubo.

Abasuubuzi bagamba nti balemeseddwa okugenda ku mirimu gyabwe ng’enguudo ziggaddwa, ate abasobodde okugenda ku mirimu, abaguzi tebalabiseeko.

Ate ku kitebe kya National Unity Platform (NUP) abasirikale omuli Poliisi n’amaggye, balemeseza bannakibiina okungana okusaba ssaako n’okusiiba, olw’embeera embi, gye bagamba egenda mu maaso mu ggwanga.

Ssenyonyi owa NUP

Okusinzira ku mwogezi w’ekibiina, Joel Ssenyonyi, ebigenda mu maaso mu ggwanga, biraga nti Museveni ayongedde okutya era obutitiizi y’emu ku nsonga lwaki alemesa abantu okutambula n’okuggyayo ebyokulwanyisa omuli Ttanka ezirina okulwanyisa omulabe.

Ssenyonyi agamba nti wadde Museveni alaga nti alina ebyokulwanyisa, essaawa yonna balina okumuggya mu ntebe nga besigama ku maanyi g’abantu n’obuyinza bw’Omutonzi.

Eddoboozi lya Ssenyonyi

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/4145125368881796