Abamu ku bawagizi ba Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa ng’omuyimbi Bobi Wine basigadde bebuuza lwaki Barbara Itungo Kyagulanyi amanyikiddwa nga Barbie azzeemu okuyoya obuyembe.

Barbie asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okuteekayo vidiyo nga bba Kyagulanyi agezaako okubaka omuyembe okuva ku miti kyokka egezezaako emirundi 4 ng’abaka ‘miss’.

Ku mulundi Ogwokutaano, omuyembe gugudde wansi kyokka omuzira kisa asobodde okuyamba Bobi okumukasukira omuyembe ogubadde gugudde ku ttaka.

Wabula abamu ku bawagizi ba Bobi ne Barbie basigadde bebuuza ebibuuzo ebyenjawulo ku vidiyo.
Munywanisa – He almost lost again.
Bashirmigadde – Bino bysbiluma ababbi bobululu.
Tomsmith5810 – First nga otandise okuyoya emiyembi this mng kiki, can we expect another Subi n Solo kla oba

Bobi Wine musajja muzadde era ye ne mukyala we Barbie balina abaana era mu Uganda y’omu kw’abo ab’egwanyiza obwa Pulezidenti.
Mu kulonda kwa 14, Janwali, 2021, Bobi Wine yakola bulungi nnyo kuba yakwata kyakubiri n’obululu obusukka mu bukadde 3, ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni yawangula okulonda era yazzeemu okulayira okuddamu okulembera Uganda ekisanja eky’omukaaga.

Nga 29, April, 2021, Barbie era yasobola okweyambisa Intagram, okwebaza Omutonzi okumuleetera Bobi Wine mu bulamu bwe era agamba nti teyejjusa.
Barbie yagambye nti, ” I am thankful to God for the day I met you @bobiwine. What a magical touch!”.

Ate Kkooti etuula ku Buganda Road eyongezzaayo okuwa ensala yaayo mu musango gw’abavubuka bekiwayi kya ‘Jobless Brotherhood’ okutuusa nga 28 omwezi guno.

Bano omuli Robert Mayanja ne Norman Tumuhimbise omusango ogubavunaanibwa kigambibwa nti baatwala embizzi ku bbanka ya Uganda enkulu nga bawakanya engeri banka ez’enjawulo gyezaali ziggalwamu nga kwotadde n’enguzi efumbekedde mu ggwanga ssaako n’okutwala embizzi ku Palamenti era ku nsonga zezimu mu 2016

Okwongezaayo omusango guno kiddiridde omu kubavunaanibwa Tumuhimbise obutajja mu kkooti nga kigambibwa nti mulwadde ate nga n’oludda lwa gavumenti terubadde namunnamateeka yenna alukiikiridde.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/188358706474568