Waliwo famire e Kawempe eri maziga olwa bamukwata mmundu abatamanyiddwa okuwamba ssemaka owa Bodaboda Ashraf Kalanzi.
Kalanzi avuga bodaboda era mutuuze mu zzooni ya Jinja Kaloli e Kawempe mu Kampala, yawambibwa mu kiro ku lunnaku Olwokubiri, sabiiti eno nga 18, omwezi guno Ogwokutaano.
Okusinzira ku mukyala we Sylvia Tiliwa, abasajja nga bakutte mmundu, baali basukka mu 10, batuuka awaka ne bayita omusajja, kyokka olw’okutya, omusajja yaddukira mu kinaabiro.
Omukyala agamba nti abasajja baakuba oluggi ne bayingira mu nnyumba era bamukuba ssaako n’abaana be, ekyawaliriza omusajja eyali yekwese mu kinaabiro okuvaayo okutaasa famire ye.
Omusajja Kalanzi, omukyala agamba nti bamukuba ssaako n’okumugyamu engoye zonna ne bamuswaza mu maaso g’abaana be, oluvanyuma ne bamuteeka mu mmotoka okutaali nnamba ne bamutwala nga yenna atonnya musaayi ssaako ne Pikipiki ye.
Ate Muganda wa Kalanzi, Samuel Kalibala agamba nti bali mu kutya nti muganda waabwe ayinza okuba yattibwa kwe kusaba ebitongole ebikuuma ddembe okuvaayo okulaga nti balina muganda waabwe.
Mungeri y’emu awanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino okulagira ebitongole ebikuuma ddembe okweddako mu ngeri gye bakwata abantu.
Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti Kalanzi tali mikono gyabwe.
Poliisi y’e Mayuge ekutte abasuubuzi abagundivu babiri (2) ku by’okutunda Buto omugingirire.
Abakwattiddwa kuliko Ronald Kawanguzi ne Habibu Waigolo nga batuuze mu zzooni y’e Dwanilo mu Tawuni Kanso y’e Mayuge mu disitulikiti y’e Mayuge.
Okusinzira ku Poliisi, abakwate baludde nga batunda buto omugingirire ku layisi, ekivaako abantu okubetanira.
Buto omutuufu, Lita etuundibwa shs 6,500 wabula abasuubuzi abakwatiddwa, baludde nga batunda buto Lita ku shs 5,000.
Patrick Babalanda, ssentebe w’abasuubuzi mu Tawuni Kanso y’e Mayuge agamba nti abantu okutunda ebintu ebigingirire, kiviriddeko Kampuni okufiirwa ssente ssaako n’abantu okutwala ebintu ebiyinza okubalwaza endwadde.
Ate Bashir Siriba, addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Mayuge agamba nti bafunye okuteegezebwa okuva mu batuuze, nti abasuubuzi abakwattiddwa baludde nga bapangisa abantu okulonda ebiveera ebisuuliddwa ebya Buto ne baddamu okubyoza, okusobola okuzaamu Buto omugingirire ku layisi.
Mungeri y’emu agamba nti Poliisi esobodde okufuna ebizibiti era essaawa yonna abakwate bagenda kutwalibwa mu kkooti.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/watch/live/?v=2938210526437158&ref=w