Poliisi  y’ebidduka nga eri wamu n’aba Kampala Capital City Authority (KCCA) etandise ku kawefube ow’okusomesa abagoba ba bodaboda mu Kampala kunkozesa y’enguudo okulaba nga bakendeza obubenje ku makubbo era nga omusomo guno guyindidde mu ggombolola y’e Lubaga.

Rogers Nsereko Kawuma ,omumyuka w’addumira poliisi y’ebidduka mu Kampala ,ategeezeza nti obubenje bweyongede nnyo ku nguudo z’omu Kampala wakati w’esaawa kumina biri ez’akawungeezi (6:00PM) n’esaawa biri ez’ekiro (8:00PM) nga okusinga obubenje buno bukolebwa aba bodaboda abaziimula ebiragiro bya kafyu wakati mu kulwanyisa ekirwadde ki Covid-19.

Annyonyode nti mumbeera eno aba boda boda wesanga nga batomede oba okusuula abasabaze be babeera battise olw’okutya abasirikale b’okunguudo okubakwata  oba okutwala Pikipiki zaabwe.

Kawuma aweze nti tebagenda kusirikiriza mu kukwata aba boda boda abamenya amateeka g’okunguudo yadde nga alina esuubi nti omusomo gwebafunye gugya kuyamba kinene mu kutereeza enkola y’emirimu gyabwe.

Kiviri Kanyike akulira ekibiina omwegattira ebibiina bya ba boda boda bonna mu Kampala , ekya Kampala Central association of boda boda riders yebaziza poliisi olw’emisomo gyetandise okubawa kyokka n’abasaba okukomya okutulugunya aba bodaboda naddala omuze gwebatandise ogw’okubakuba emiggo nga ente.

Kanyike agamba nti aba bodaboda n’abo bantu era bali mu Kampala kunoonya kasente nga kiswaza omusirikale yenna okudda kuwa bodaboda okumukuba emiggo.

Okusomesa aba boda boda ye mu Ku kawefube akoledwa mu kukuza wiiki y’okumalawo obubenje ku nguudo.

Ate Poliisi y’e Namungoona mu Divizoni y’e Lubaga mu Kampala, eri ku muyigo gw’okunoonya omukyala ku misango gy’okusuula omwana mu kasasiro.

Omwana asuuliddwa akyali muto, kyokka Poliisi, ekyalemereddwa okuzuula ebbanga lye era ng’asangiddwa ng’azingiddwa mu kaveera.

Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agamba nti omukyala asudde omwana abadde alina ekigendererwa eky’okutta omwana we era y’emu ku nsonga lwaki yamutadde mu kaveera.

Owoyesigyire agamba nti omukyala ali mu kunoonyezebwa aguddwako emisango gy’okwagala okutta omuntu era omuyiggo gukyagenda mu maaso.

Mungeri y’emu avumiridde eky’abakyala okuzaala abaana ate ne babasuula.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/2938210526437158