Oulanyah alemeddeko, ayagala buyinza bwa Palamenti!
Ebbugumu lyeyongedde mu kibiina ki National Resistance Movement (NRM) mu kunoonya agenda okulemberamu ekibiina okuvuganya ku bwa sipiika bwa Palamenti mu Palamenti y’e 11.
Nsalesale ku begwanyiza obwa sipiika agwako akawungeezi k’olunnaku olwaleero ate ku Ssande nga 23, omwezi guno Ogwokutaano, bannakibiina bonna, webagenda okulonda omuntu agenda okulemberamu ekibiina ku bwa sipiika, obugenda okulondebwa ku Mmande ya sabiiti ejja nga 24, omwezi guno Ogwokutaano.

Olunnaku olwaleero, abadde amyuka sipiika mu Palamenti y’e 10 era omubaka w’e Omoro, Jacob Oulanyah ataddeyo ebiwandiiko bye, mu kakiiko k’ebyokulonda mu kibiina ki NRM okuvuganya okulemberamu ekibiina ku bwa sipiika.
Oulanyah abadde anekanekanye mu ssaati y’ekibiina eya kyevu, abadde awerekeddwako abantu bangi ddala ku kitebe ky’ekibiina e Kyadondo omuli abakiise ba Palamenti okulaga nti betegese okutwala ekya sipiika.

Oulanyah agamba nti wadde ku mulundi guno okulonda kwakyama, talina kutya kwonna kuba ababaka betegese bulungi nnyo okumulonda nga sipiika wa Palamenti.
Mu kiseera kino NRM yakafuna abantu babiri (2) abakavaayo okuvuganya ku bwa sipiika okuli Oulanyah ssaako n’abadde sipiika mu Palamenti y’e 10 era omubaka omukyala ow’e Kamuli Rebecca Alitwala Kadaga.

Ate ku ky’okumyuka sipiika mu Palamenti y’e 11, NRM yakafuna abantu 4 abegwanyiza okulemberamu ekibiina okuli abadde Minisita omubeezi ku nsonga z’ebyobulamu era omubaka omukyala owe Kakumiro Ronabinah Nabbanja eyasuubiza okumalawo okulwanagana mu Palamenti n’enjawukana.
Abalala kuliko omubaka omukyala ow’e Bukedea Anita Annet Among, omubaka w’e Ruhinda North Thomas Bangirana Tayebwa ssaako ne West Budama Jacob Marksons Oboth.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna nga 20, May, 2021 omubaka omukyala we Rakai Juliet Kinyamatama Suubi yaganiddwa okuwandisibwa okuvuganya mu kibiina ki NRM ku ky’okumyuka sipiika.
Okusinzira ku ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM Dr. Tanga Odoi, bannakibiina bokka abalondeddwa okukiika mu Palamenti ku kaadi ya NRM, bebalina okuwandisibwa n’okwetaba mu kulonda.
Dr. Tanga Odoi agamba nti buli muntu eyesimbyewo, alina okufuna ba ‘Agenti’ babiri (2) ku Ssande ku lunnaku Olw’okulonda.
Olunnaku olw’enkya ku Lwomukaaga nga 22, May, 2021, amannya g’abantu abesimbyewo okulemberamu ekibiina ku bwa sipiika, gagenda kusindikibwa eri akakiiko ak’oku ntikko mu NRM aka Central Executive Committee (CEC).
Ebirala ebifa mu ggwanga kuliko – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/2938210526437158