Kyaddaki munnakibiina ki National Resistance Movement (NRM) Jacob Oulanyah awangudde obwa sipiika bwa Palamenti ng’asobodde okumega abantu babiri (2).
Oulanyah afunye obululu 310 ate abadde sipiika mu Palamenti y’e 10 era omubaka omukyala we Kamuli Rebecca Alitwala Kadaga amalidde mu kyakubiri ng’afunye obululu 197 ate munna Forum for democratic change (FDC) era omubaka we Kiira Ibrahim Ssemujju Nganda yekwebedde mu kyokusatu ng’afunye obululu 15.
Mu kulonda kwa leero, abakise ba Palamenti 524 ku 529 bebalonze ng’obululu 2 bufudde.
Emikolo gy’okulondesa sipiika gikulembeddwamu ssaabalamuzi w’eggwanga Alfonse Owiny-Dollo era n’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni abaddewo okutuusa okulangirira omuwanguzi.
Oluvanyuma lwa Oulanyah okulangirirwa, abakiise ba Palamenti n’okusingira ddala ku ludda oluvuganya, batandikiddewo okwekalakaasa nga bawakanya abamu ku basirikale mu bitongole ebikuuma ddembe okuyingira mu Ttenti zaabwe.
Banno nga bakulembeddwamu omubaka we Kalungu West Joseph Ssewungu Gonzaga, Mityana Monicipality Francis Zzaake balayidde wakiri okufa naye nga amaggye
Oluvanyuma lw’okusika omuguwa, Pulezidenti Museveni ayingidde mu nsonga era asobodde okweyambisa Oluswahiri n’olungereza okusaba amaggye gonna okwamuka ttenti ebadde etuddemu, abakiise ba Palamenti.
Pulezidenti Museveni amangu ddala asobodde okuteeza Ssewungu nti alaggye abadde amutawanya, ajanjabiddwa.
Oulanyah oluvanyuma asobodde okukuba ebirayiro era akwasiddwa obuyinza bwa Palamenti y’e 11.
Olutudde mu ntebe, asiimye bannakibiina, okumwesiga era agamba nti kati ye ssaawa okutambuliza awamu emirimu mu kukuuma ekitiibwa kya Palamenti.
Oulanyah akulembeddemu okulonda omumyuka we, era okulonda kukyagenda mu maaso mu kiseera kino.
Abavuganya ku ky’okumyuka sipiika kuliko omubaka wa Kampala Central MP Muhammad Nsereko, omubaka omukyala ow’e Bukedea munna NRM Anita Annet Among ssaako n’omubaka we Mawokota South Yusuf Nsibambi munna FDC.
Wabula omubaka we Adjumani West era abadde amyuka ssaabaminisita asooka Gen Moses Ali wadde omubaka we Mukono Betty Nambooze Bakireke abadda aleese erinnya lye, agaanye okuvuganya.
Mungeri y’emu n’omubaka we Kawempe North, Muhammad Ssegirinya naye agaanye okuvuganya ku ky’okumyuka sipiika, era omubaka we Butambala Muhammad Muwanga Kivumbi, asobodde okumuyamba okugaanya bw’ategezeza nti akyali mugonvu.
Ebirala ebifa mu ggwanga kuliko – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/2685194258271529