Omuyimbi w’ennyimba z’eddiini mu ggwanga erya Kenya Christopher Nyangwara amanyikiddwa nga Embarambamba, ali mu katu nga kivudde ku vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta bantu.

Omuyimbi no, yabadde mu Kirabu mu kibuga Nairobi era mu vidiyo, era mu vidiyo eraga nti yabadde n’omuwala nga bakola nga bali mu kaboozi mu kifo eky’olukale bwe yabadde ayimba ezimu ku nnyimba ze.

Bangi ku bannansi mu Kenya, bavumiridde eky’omuyimbi w’ennyimba z’eddini okweyisa mu ngeri bwetyo era bangi, balowooza nti yabadde mu kaboozi

Kati no Poliisi evunaanyizibwa ku mpisa, etandiise okunoonyereza ku nneyisa ye n’okuzuula oba omukyala yabadde akkiriza okweyisa bwatyo, ekityoboola ekitiibwa ky’abakyala ssaako n’okutambuza obuseegu.

Ate omukulembeze w’ennono mu ggwanga erya Zimbabwe alagidde okuzikula eyali omukulembeze w’eggwanga Robert Mugabe addemu okuziikibwa mu kitiibwa ate mu kifo Gavumenti weziika abantu mu kibuga Harare, abakoze eby’enjawulo mu ggwanga.

Mugabe yafa mu 2019 era yaziikibwa mu kyalo gye yali azaalibwa mu katawuni k’e Kutama.

Kigambibwa Mugabe yalaama obutamutwala mu kibuga Harare oluvanyuma lw’okunyiiga, olw’okugibwa mu ntebe mu 2017 newankubadde omukulembeze w’eggwanga Emmerson Mnangagwa eyadda mu bigere bye, yali alemeddeko okuziikibwa mu kifo kya Gavumenti.

Wabula omukulembeze w’ennono mu disitulikiti y’e Zvimba agamba nti afunye okwemulugunya okuva famire ya Mugabe ku ngeri gye yaziikibwamu.

Agamba nti eyali mukyala wa Mugabe, Grace Mugabe yasingisiddwa emisango gy’okuzimuula ennono mu kiseera ky’okuziika n’okusalawo okuziika bba mu kyalo gye yazaalibwa ate nga yali musajja wanjawulo mu ggwanga.

Grace Mugabe tabadde mu lukiiko olusazeewo eby’okuziikula Mugabe wabula ataanziddwa ente (ttaano) 5 ssaako n’embuzzi emu (1).

Wabula bangi ku bannansi, bagamba nti okuziikula Mugabe, kigenda kuweebula famire ye, Omukyala ssaako n’okutaataganya eddembe ly’omufu.

Mugabe, yali ssaabaminisita wa Zimbabwe okuva 1980 okutuusa 1987 oluvanyuma yafuna obukulembeze bw’eggwanga okuva 1987 okutuusa 2017 lwe yagibwa mu ntebe.

Bagenda okumuggya mu ntebe, yalina emyaka 93 ate agenda okufa ng’alina emyaka 95.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/538270214001889