Kyaddaki eyali omuddumizi w’amaggye mu ggwanga era abadde Minisita w’emirimu n’entambula Gen Katumba Wamala alambuludde engeri gye yasimatuse okuttibwa olunnaku olw’eggulo.
Katumba yalumbiddwa abatemu bana 4 nga bali ku Pikipiki olunnaku olweggulo ku Lwokubiri ku Makya ku ssaawa nga 2 ku luguudo lwe Kisaasi – Kisota.
Abatemu basse muwala wa Katumba Branda Nantongo ssaako ne ddereeva we Kayondo Haruna kyokka omukuumi we Sgt. Khalid Koboyoit teyafunye kisago kyonna.
Katumba yatwaliddwa mu ddwaaliro lya Malcolm e Kisasi okufuna obujanjabi obusookerwako oluvanyuma bamwongeddeyo ku Medipal International Hospital mu Kampala okulongosebwa kuba yabadde akubiddwa amasasi ku mikono.
Bw’abadde ayogerako eri abakungubazi mu makaage e Najjera, Katumba agambye nti abatemu batandiise okukuba emmotoka amasasi era mu kusooka yabadde amannyi waliwo Pikipiki ebatomedde.
Agamba nti okuzuula nti masasi, muwala we Brenda yabadde akubiddwa era bwe yabadde agenda okufa yagambye nti ‘Jesus’.
Katumba agamba nti yagudde wansi mu ntebe okutaasa obulamu kyokka oluvanyuma yasobodde okufuna, obuvumu okuggulawo oluggi lw’emmotoka okusobola okwetaasa kyokka muwala we Brenda yabadde amaze okufa ne ddereeva Haruna.
Gavumenti eyogedde!
Gavumenti egumizza eggwanga okunoonya abatemu, abakulembeddemu okulumba Gen. Katumba Wamala nga bagala okumusanyawo ne bawunzika nga basse muwala we Branda ssaako ne ddereeva we Haruna.
Akawungeezi ka leero, mu kusaba okubadde mu maka ga Gen. Katumba Najjera, Gavumenti ekikiriddwa, eyali Nampala wa Gavumenti mu Palamenti y’e 10 Ruth Nankabirwa.
Olukutte akazindalo, Nankabirwa asuubiza bannayuganda nti Gavumenti, yatandikiddewo okunoonyereza okuzuula abatemu kuba kigenda kuyamba nnyo okutegeera ekigendererwa kyabwe.
Mungeri y’emu agambye nti eky’okulumba Komanda Gen Katumba Wamala, omusajja ategeera ensonga y’ebyokwerinda ssaako n’ebyokulwanyisa, kyongedde okuzibula Gavumenti amaaso, okwongera okuteeka kkamera mu buli kifo ekirimu enzigota, okutangira abatemu okubyeyambisa okutta abantu.
Ate abadde Minisita w’ebyenjigiriza by’amatendekero aga waggulu John Chrysostom Muyingo, agamba nti Gen. Katumba y’omu ku bantu abakoze ebintu ebyenjawulo mu kulakulanya eggwanga lino era yewunya omuntu yenna bw’ayinza okulowooza ate okwagala okumutta.
Muyingo asabye Gavumenti okunoonyereza okuwa bannayuganda alipoota ku batemu abalumbye Gen. Katumba.
Ate famire ya Gen. Katumba, bawanjagidde abatemu okubategeeza lwaki Gen. Katumba betaaga okumutta okusasula oba okwetonda okusinga okutwala omuntu waabwe, omuntu w’abantu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/520312062430194