Bamukwatammundu abatamanyiddwa bakubye amasasi abadde Minisita w’ebyenguudo n’entambula, General Edward Katumba Wamala.
Gen. Katumba abadde mu mmotoka y’amaggye nnamba H4DF 2138 era amasasi bagamukubidde ku luguudo lwe Kisasi-Kisota.

Wabula muwala we ategerekesenga Brenda Nantongo ne ddereeva we Haruna Kayondo bafiiriddewo ate Gen Katumba akubiddwa amasasi mu mukono era atwaliddwa mu ddwaaliro lya Medipal International Hospital ng’ali mu mbeera mbi

Okusinzira ku batuuze, nga bakulembeddwamu Kisembo Julius abatemu babadde ku Pikipiki 2 nga bali 4 era oluvanyuma lw’okukuba Gen. Katumba amasasi, bavuze badda ku ssomero lya Mariam High.

Omuduumizi w’eggye lya UPDF mu ggwanga, Gen. David Muhoozi naye atuseeko mu kifo Gen. Katumba webamukubidde amasasi wakati mu byokwerinda, okwekeneenya embeera.

EBYAFAAYO BYA KATUMBA

  • Yazaalibwa Kalangala mu bizinga by’e Ssese nga November 19, 1956. Amaze emyaka 38 mu magye ge yayingira mu 1979.
  • Yalondebwa ng’omuduumizi wa UPDF mu 2013 okutuuka mu January wa 2017 lwe yakyusiddwa. Aweza emyaka 60.
  • Ng’amaze okuyingira amagye mu 1979, yafuulibwa 2nd. Lt. mu 1980 ng’amalirizza okutendekebwa e Tanzania.
  • Mu 1986 NRA/M we yawambira yali mu ggye ly’eggwanga erya Uganda National Liberation Army (UNLA) mu biseera bya UPC n’oluvannyuma Okello Lutwa.
  • Abayeekera ba Museveni olwawamba, Katumba Wamala yasala eddiiro ne yeegatta ku NRA oluvannyuma eyafuuka UPDF.
  • Katumba Wamala aduumidde ebikwekweto by’amagye ga UPDF nga balwanyisa abayeekera ba West Nile Rescue Front II mu West Nile, abayeekera ba Lord Resistence Army mu Acholi ne Gulu.
  • Wakati wa 1998 okutuuka mu 1999, yaduumirako ekibinja ekyokuna ekya UPDF e Gulu.
  • Mu 1999, yagenda mu ttendekero ly’eby’amagye n’akomawo mu 2000 n’akuzibwa okutuuka ku ddaala lya Maj. General n’asindikibwa okuduumira eggye lya UPDF mu Democratic Republic of Congo.
  • Mu 2001, Pulezidenti yamulonda okuduumira poliisi ya Uganda ng’adda mu kifo kya John Kisembo. Yafuuka munnamagye eyasooka okuduumira poliisi mu ggwanga.
  • Mu 2005 yakuzibwa n’atuuka ku ddaala lya Lt. General era n’afuulibwa omuduumizi w’eggye ly’oku ttaka. Mu kiseera ekyo ye yali alabirira amagye ga Uganda agakuuma emirembe e Somalia.
  • Nga May 23, 2013, yasuumuusibwa n’atuuka ku ddaala lya General era n’afuulibwa omuduumizi w’eggye lya UPDF ng’adda mu kifo kya Gen. Aronda Nyakairima.
  • Abanguddwa mu by’amagye okuva mu Uganda, Tanzania, Russia, Nigeria ne USA.

Ebirala ebifa mu ggwanga kuliko – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/762185074460570