Munnamaggye omutendeke amyuka omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga komando Maj Gen Paul Lokech, agumizza eggwanga Poliisi obutebaka okutuusa ng’ezudde abatemu, abakoze obulumbaganyi ku Gen Katumba Wamala ssaako n’okutta abantu be.

Gen. Katumba, yalumbiddwa sabiiti ewedde nga 1, omwezi guno Ogwomukaaga era wadde yasobodde okusimatuka abatemu, muwala we Brenda Nantongo yattiddwa ssaako ne ddereeva we Haruna Kayondo.

Gen. Katumba lwe bamulumba

Wabula Maj Gen Lokech agamba nti abatemu abakoze obulumbaganyi ku Gen Katumba, bagenda kwattibwa era tewali muntu yenna gwe bagenda kuttira ku liiso.

Gen. Lokech asinzidde ku kitebe kya Poliisi e Naguru.

Gen Lokech

Mungeri y’emu agambye nti obunafu mu kitongole ekya Poliisi n’okusingira ddala mu byempuliziganya y’emu ku nsonga lwaki abatemu, basobodde okusimatuka ne badduka.

Gen. Lokech agamba nti wadde kkamera ziri ku nguudo, balina okukola ku bituli ebiri mu kitongole ekya Poliisi, okuziyiza embeera y’emu okuddamu.

Ate Famire y’omusuubuzi John Damulira ewanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuyingira mu nsonga zaabwe, okuyambako mu kunoonya omuntu waabwe.

Damulira ali mu gy’obukulu 50 nga musuubuzi wa sipeeya wa mmotoka ewa Kisekka, yakwatibwa nga 21, November 2020 nga wakayita ennaku 2 zokka, ng’abantu bekalakaasiza ku ky’okusiba Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.

Kyagulanyi bamukwatira mu disitulikiti y’e Luuka ku by’okugyemera ebiragiro by’okulwanyisa Covid-19 mu kiseera kya Kampeyini, ekyavaako abantu okwekalakaasa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo era abantu bangi baakwatibwa ate abasukka 40 battibwa.

Kati no, famire ya Damulira nga bakulembeddwamu omukyala Sarah Damulira, bagamba nti banoonyeza, mu kkomera, enkambi z’amaggye, Poliisi ez’enjawulo, ogenda mu kkooti naye Damulira akyabuze.

Bba wa Damulira

Damulira nga mutuuze e Wakulekaana e Makindye bukya atwalibwa, ebbanga ligenda myezi musanvu (7) era omukyala Sarah Damulira agamba nti bukya atwalibwa, embeera embi eyongedde okusanikira famire nga ne ky’okulya ennaku ezimu kibula.

Sarah mu kiseera kino alina abaana munaana (8) n’abazukkulu babiri (2) era wakati mu kulukusa amaziga, ayogedde ku mbeera.

Sarah Damulira

Sarah yegatiddwako mutabani we Ndugwa Davine okuwanjagira omukulembeze w’eggwanga okubakwasizaako okuzuula omuntu waabwe mu ngeri yonna oba mulamu oba mufu.

Sarah Damulira wadde akiriza okuwayamu naffe, ensonga ze zikyali mu kkooti.

Wabula n’abadde Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odonog bwe yali ayanjulira Palamenti ‘List’ y’abantu abagambibwa nti babuzibwawo, Damulira teyaliko, ekyongera okutiisa famire.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/2596339413995533