Omukyala azadde abaana 10 mu ggwanga erya South Africa era ebiriwo, biraga nti mu nsi yonna, ye mukyala akyasinze okuzaala abaana abangi.

Abaana abazaaliddwa kuliko abalenzi musanvu (7) ssaako n’abawala basatu (3).

Omukyala ono Gosiame Thamara myaka 37 agamba nti bwe yagenda mu sikaana, abasawo balaba abaana musanvu (7) bokka kyokka bwatuuse okuzaala, akubyewo abaana 10.

Abaana ne maama bali mu mbeera nungi ng’alongoseddwa abasawo mu kibuga Pretoria.

Mu ddwaaliro gy’azaalidde, abasawo bali mu sannyu olw’okuzaalisa omukyala, akyasinze okuzaala abaana abangi.

Thamara yasemba okuzaala emyaka mukaaga (6) egiyise era yazaala balongo nga mu kiseera kino abaana, balina emyaka mukaaga (6).

Omukyala munnansi wa America eyazaala abaana munaana (8) mu 2009, yabadde alina likodi y’omukyala akyasinze okuzaala abaana abangi omulundi gumu.

Wabula omwezi oguwedde, omukyala Halima Cisse myaka 25 nga munnansi wa Mali yazaala abaana mwenda (9) mu ggwanga erya Morocco era bonna bali bakyali mu Kiriniki mu ggwanga erya Morocco.