Pulezidenti Museveni alabudde, alangiridde ekiddako!

Kyaddaki bajeti y’eggwanga esomeddwa ey’omwaka 2021 – 2022 wakati mu kulwanyisa Covid-19 nga ya butabalika 44.7.

Mu bajeti esomeddwa omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ng’ayambiddwako Amos Lugoloobi eyalondeddwa, nga Minisita omubeezi  w’ebyensimbi, ebyokwerinda byebisinze okufuna ensimbi nga biwereddwa obutabalika 3.4 (trillion) ekitongole ky’ebyenguudo obutabalika 3.1, Minisitule y’ebyobulamu ekutte kyakusatu akatabalika 1.4, Minisitule y’ekikula ky’abantu akatabalika 1 ate Minisitule y’ebyobulimi Biriyoni 500.

Mu Bajeti, Gavumenti ereese emisolo 7 emipya omuli ebitundu 12 ku 100 okusolo ku Data okusikira omusolo gwa OTT, ebitundu 25 ku 100 oba shs 250 ku mwenge gwa Bannayuganda abakolera kuno, emitwalo 70,000 ku nuuni.

Mungeri y’emu baleese omusolo ebitundu 30 ku 100 ku nnyumba ezipangisibwa.

Ate mu bitongole, Palamenti eweereddwa biriyoni 831, ekitongole ekiramuzi biriyoni 370 ate eby’obugagga eby’omu ttaka akatabalika 1.1.

Gavumenti egenda kwewola obutabalika obusukka 11 mu bbanka zakuno ate obutabalika 9 okuva mu nsi z’ebweru.

Mungeri y’emu, obutabalika 28.8 Gavumenti zesuubira okusasaanya mu bajeti y’omwaka 2021 – 2022 ate obutabalika 15.9 okusasula ku bbanja.

Kigambibwa, Uganda ebanjibwa obutabalika 65 okuva mu nsi z’ebweru ssaako ne wano mu Uganda.

Bajeti olusomeddwa, omukulembeze w’eggwanga, ayogeddeko eri eggwanga era asuubiza okwongera, okutangira omuntu yenna ayinza okutabangula eggwanga lino.

Museveni agambye nti yali kafulu eyebuzibwako mu kutundula envuza era obukodyo bwe yafuna, bw’agenda okweyambisa mu kunoonya abatemu omuli n’abo abaali bagezaako okutta Gen. Katumba Wamala.

Mungeri y’emu Museveni agambye nti abatemu abakola obulumbaganyi ku Gen. Katumba basuula olugoye kyokka waliwo omutuuze eyalutwala.
Asabye omutuuze eyalutwala alukomyewo, okuyambako mu kunoonyereza abatemu

“Obulumbaganyi obwakolebwa ku Gen. Katumba sibwabulijjo wabula nsonga za byabufuzi era mbakakasa nti embizzi ezzo tugenda zikwata. NRM ffe tetukola bwetutyo kuba twekakasa kyetuli era tetuyinza kutta muntu olwakuba atuwakanya” Museveni eri eggwanga.

Pulezidenti Museveni ategeezezza nti tewali muntu yenna amuyambako nga alonda omumyuka we ne baminisita era nga guno gwegumu ku mirimu gyeyekolera nga tayambiddwako . Museveni ategeezeza nti bwaba agaba bifo atunuulira eddiini,amawanga n’ekitundu gyoova.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1104805846708137