Poliisi mu Kampala ekutte abantu abasukka mu 80 mu kikwekweeto ekikoleddwa, ku bantu abegumbulidde okuziimula amateeka wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Abantu 50 basangiddwa nga bali mu bbaala emanyikiddwa nga Garage e Ntinda era batwaliddwa ku Poliisi ez’enjawulo.

Ate 36 basangiddwa ku Levels Lounge e Kamwokya nga bali kunywa omuli abakyala 14 ssaako n’abasajja 22.

Abamu ku bakwate, mu bbaala basangiddwa bali mu laavu ng’abamu balabiddwako nga bali mu kwenywegera.

Abasajja abamu, basangiddwa ng’emikono, bagitadde mu sikaati z’abakyala ng’abakyala, bekola obusolosolo okulaga omukwano.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, abagiddwa e Kamwokya batwaliddwa ku Poliisi y’e Kiira.

Owoyesigyire agamba nti ebikwekweeto bikyagenda mu maaso ku bantu abalina emputtu, abazimuula ebiragiro by’okulwanyisa Covid-19.

Mu kiseera kino bonna abakwattibwa, bakutwalibwa mu kkooti nga Poliisi bw’erinda, minisitule y’ebyensimbi, okuvaayo ne fayini ez’enjawulo ku bantu abakwattiddwa.