Kyaddaki amaggye gavuddeyo ku bya General Kale Kayihura okuweebwa eky’okuddumira mu ggwanga lino okudda mu bigere bya Gen. David Muhoozi.

Sabiiti eno, Ssentebbe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yafulumiza ‘List’ ya Kabinenti.

Mu Kabinenti, omudduumizi w’amaggye Gen. Muhoozi yaweereddwa ekya Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga.

Abamu ku bannabyabufuzi bagamba nti Pulezidenti Museveni okuwa Gen Muhoozi obwa Minisita, kabonero akalaga nti essaawa yonna agenda kumuggya mu maggye, obuduumizi bw’eggye abuwe omuntu omulala.

Mu kiseera kino, Gen. Muhoozi y’omu ku babaka ba Palamenti abakikirira amaggye mu Palamenti.

Oluvanyuma lwa Pulezidenti Museveni okulonda Gen. Muhoozi ku bwa Minisita, abamu ku bannayuganda batandikiddewo okutambuza ebigambo ku mikutu migatta bantu nti Gen. Kayihura alondeddwa okudda mu bigere bya Gen. Muhoozi.

Wabula omwogezi w’amaggye mu ggwanga Brig Gen. Flavia Byekwaso asabye bannayuganda okukomya okupapira ebigambo era ensonga z’aba Gen balina kuzirekera ba Gen.

Ate bannakibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) bakangudde ku ddoboozi ku ky’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okulonda amyuka Pulezidenti w’ekibiina kyabwe Owek. Joyce Naboosa Ssebugwawo, nga Minisita omubeezi ow’amawulire, Tekinologye ssaako n’okulungamya eggwanga.

Okusinzira ku Pulezidenti w’ekibiina Patrick Oboi Amuriat, Owek Ssebugwawo akkiriza ekifo ekyamuwereddwa era yakkiriza nga tewali kwebuuza ku kibiina wadde okukitegezaako.

Amuriat agamba nti Owek Ssebugwawo okwegatta ku NRM okutambuza emirimu, kabonero akalaga nti amenye sseemateeka wa FDC akawayiro 12 era kiraga nti avudde mu kibiina.

Mungeri y’emu agamba nti newankubadde Owek Ssebugwawo, aweereza ekibiina, emyaka egisukka 20, okuva mu kibiina, FDC esigadde y’amaanyi.

Amuriat, asuubiza okulonda agenda okudda mu bigere bya Owek Ssebugwawo, akola nga amyuka Pulezidenti w’ekibiina ki FDC mu bbanga lya sabiiti 2 zokka.

Mu kiseera kino nga bangi ku ba FDC, bakyebuuza ekyasindikiriza Owek Ssebugwawo okwegatta ku Muzeeyi Museveni okutambuza emirimu wabula Amuriat asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okusaba bannakibiina, obutagezaako wadde kulumbagana Owek Ssebugwawo wabula okumwagaliza emirembe mu Gavumenti gy’agenda okutambuza emirimu.