Ekiyongobero kibuutikidde abatuuze b’e Kayunga, ssentebe wa LC 5 Ffefeka Muhammad Sserubugo bw’asangiddwa nga yetugidde ku muti.
Sserubugo yetugidde ku muti gwa ffene ku kyalo Kyebanja mu disitulikiti y’e Kayunga era kigambibwa yesse mu kiro ekikeseza olwaleero.

Mu kulonda okuwedde, Sserubugo yawangudde obwa ssentebe bwa disitulikiti y’e Kayunga ku kaadi y’ekibiina ki National Unity Platform (NUP).
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa Hellen Butoto, Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu ekivuddeko Sserubugo okwetta.

Sserubugo abadde avuddeyo nnyo mu kulwanyisa obuli bw’enguzi n’okulwanyisa ekibba ttaka era okufa kwe, kulesa abatuuze nga basobeddwa.
Wabula Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okusaba Poliisi okunoonyereza ku nfa ya Sserubugo.

Kyagulanyi agamba nti bafunye amawulire ku bantu abenjawulo nti Sserubugo ayinza okuba yattiddwa, era Poliisi okunoonyereza, kigenda kuyamba nnyo abantu okutegeera amazima.
Mungeri y’emu n’abatuuze bagamba nti Sserugobo ayinza okuba yattiddwa oluvanyuma abatemu ne bamuwanika waggulu ku muti, okusobola okubuzabuza obujjulizi.
Ate minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu n’ebyobuwangwa Peace Mutuuzo alagidde ekitongole ekya Poliisi okunoonyereza mu bwangu ssemaka eyakwattiddwa ku misango gy’okutta mukyala we ssaako n’abaana ne akangavulwe.

Ssemaka Vian Felix Ahimbisibwe amanyikiddwa nga Armstrong myaka 45 yakwattiddwa ku by’okutta mukyala we Rovinah Muheki myaka 43, n’abaana 3 okuli 17, 15 n’emyaka 5 nga bonna, yabookedde mu nnyumba ku kyalo Butare mu ggoombolola y’e Muko mu disitulikiti y’e Rubanda.
Wabula Poliisi egamba nti mu kiseera kino erina abaana munaana (8) ku misango gy’okutta abantu omuli ssemaka omutemu Ahimbisibwe, bazadde be okuli kitaawe ssaako ne nnyina, mikwano gye ssaako n’abaganda be.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, abakwate abali ku kitebe kya Poliisi Rubanda.
Wabula Minisita Mutuuzo agamba nti okunoonyereza kulaga nti famire y’omusajja yabadde mu lukwe lw’okutta omukyala ssaako n’abaana, era okubakwata kigenda kuyambako okuzuula amaziga.
Minisita Mutuuzo akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo yatuseeko ku nnyumba, omukyala n’omwana mwe bafiira kwe kulagira Poliisi okwanguyiriza mu kunoonyereza.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1131792333973110