Omuyimbi Sheebah Kalungi y’omu ku bayimbi abasanyufu ennyo era ajjaguza emyaka 2 bukya ayingira ennyumba ye.
Sheebah yazimba amaka e Munyonyo era mu Uganda y’omu ku bayimbi abakyala abalina ennyumba.
Ng’omuntu omulala yenna, ne Sheebah enju ye eyitibwa ‘Queendom‘.

Sheebah ng’ali mu ssanyu

Ku Instagram, Sheebah agamba nti, “
Cheers 2 The Queendom
Happy 2nd Anniversary to MY QUEENDOM
My house will forever be one my biggest accomplishment EVER
I prayed & worked so hard for the life am Living today!! Thank you GOD The BEST 2years of my life so far! And I know it’s just the beginning!! Imagine how my second house will look like…. GodAboveAll. To all my fellow Queens, YOU CAN DO IT ON YOUR OWN TOO
“.

Ebigambo bya Sheebah biraga nti buli muntu alina okukola ennyo, okwerelereza ate buli kimu kisoboka mu bulamu.
Ate ng’omukyala eyasobola okweyambisa Talenti okuzimba, kiraga nti abazadde balina okuwa emikisa abaana baabwe okutumbula talenti zaabwe.

Link ya Vidiyo

https://www.instagram.com/p/CQQJEi5D2Dl/

Sheebah ng’ali mu swagga

Sheebah y’omu ku bakyala abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba mu ggwanga lino Uganda.
Ezimu ku nnyimba ezimufudde omuyimbi ow’enjawulo mwe muli Wankona, Kale Maama, Nakyuka, Ninda, Twesana, Binkolera, Replace Me, Onkutudde n’endala.

Emyaka 2 egya Queendom

Mu Uganda, Sheebah y’omu ku bannayuganda abalina abagoberezi abangi ku mukutu ogwa Instagram era okujjaguza emyaka 2 egya Queendom, yawadde abantu ab’enjawulo essanyu.
Omuyimbi Winnie Nwagi agamba nti I know.
Lydia Jazmine – You Worked For Years Hunie And Earned It! Enjoy
Carol Nantongo – hardwork bebs
Cathy Patra3 – Happy Anniversary
Real Poptain – Verified
Is it me alone whose staring at the middle
Fatuma Hasha – You deserve every bit of happiness

Ekisaawe ky’okuyimba mu kiseera kino kiri wansi nnyo olwa Covid-19 era bangi ku bayimbi bali mu mbeera mbi kuba tebakyakola ssente.
Abayimbi bangi baali bakola buli wiiki nga balina ebivvulu kyokka olw’embeera ya Covid-19, tewali kuyimba era bangi ku bayimbi abaali bayingiza ssente, ebintu sibirungi.
Olwa Covid-19, abayimbi abegatira mu kibiina kyabwe ekya ganda Musicians Association (UMA) bagamba nti Gavumenti yandibadde evaayo okubayamba wakiri okufuna eky’okulya kuba embeera mbi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/3913774158734002