Doreen Kabareebe omwolesi w’emisono ow’erinnya (Model) mu Uganda ne Africa, alaze nti ddala alina talenti mu bintu ebyenjawulo era ddala agwanidde okukikirira Uganda mu mpaka ez’enjawulo.

Kabareebe agamba nti yazaalibwa nga 25, December, 1990) e Mbarara nga mu kiseera kino alina emyaka 31.
Mu 2010, y’omu ku bawala abavuganya ku bwa Miss Uganda era y’omu ku ba ‘Model’ abali mu Uganda abakola obulungi.

Kabareebe talina musajja amanyikiddwa wadde y’omu ku bawala abategeera okulya obulamu n’okwetekamu ssente.
Asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okuteekayo vidiyo ng’azina ne mukwano gwe gw’agamba nti muganda we omulenzi.

Wadde mu vidiyo alaze nti ategeera okulya ‘Dansi’, agambye nti waliwo abayinza okugamba nti tategeera kuzina era mu bigambo bye agambye nti, “Haters will say I can’t dance“.

Wabula abamu ku bagoberezi be ku Instagram bagambye nti
Nicknolamusic – hahhaam. wama babe u can danc
Nina_mirembe – You can’t dance come beat me
Prim asiimwe – Can you?
256_influencers – good thing you can read their minds
Shugauganda – Why am i not there
Allanzuma – u can but more practice MA dia

Vidiyo

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/06/Doreene0.mp4

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/308847230969972