Waliwo omusiguze asimatuuse okuttibwa ssemaka bw’amukutte ng’ali mu kaboozi ne mukyala we ate ku buliri bwe.
Okusinzira ku vidiyo, omukyala abadde tasuubira bba nti ayinza okudda awaka era y’emu ku nsonga lwaki asobodde okufuna obuvumu, okuyingiza omusiguze mu kisenge kyabwe.
Omusiguze wadde mulenzi muto, abadde talina kutya kwonna nti ssemaka ayinza okudda awaka okubalemesa okusinda omukwano.

Rawundi esooka etambudde bulungi ddala kyokka abadde yakaddamu okunyumya rawundi ey’okubiri, ebintu tebitambudde bulungi.
Ssemaka akomyewo ng’omukyala n’omusiguze bali mu kisenge era omukyala awunze olwa bba okumusanga mu kikolwa.
Ssemaka avudde mu mbeera era atuukidde ku musiguze.
Wadde omukyala akubye enduulu n’okusaba bba okusonyiwa omusiguze, omusajja amukubye ebikonde era omusiguze awonedde watono okuttibwa.

Mu vidiyo, omukyala yetoonze olwa bba okumukwatira mu bwenzi era agambye nti ‘daddy am sorry, Please am sorry, don’t kill him please am sorry, Please daddy am sorry don’t kill him”, wabula omusajja abadde munyivu nnyo.

Wadde omusiguze asobodde okufuna omukisa okudduka, omukyala akubiddwa era abatuuze bebasobodde okuyamba okutaasa.
Naye lwaki!
Omukyala yenna asobola okwenda oba omusajja naye sikirungi kuleeta musajja oba mukyala mu kisenge kyamwe kuba kikolwa kya bujoozi nnyo okuleeta omukazi oba omusajja mu buliri bwa mukyala wo oba omusajja.

Mu nsi yonna, ebivaako omukyala oba omusajja okwenda bintu bingi omuli obutawa mukyala oba musajja budde mu nsonga z’omu kisenge, obutamatira, waliwo abakyala nga bagala ssente nga kiyinza okubasindikiriza okwenda n’ebintu ebirala.

Mu nsi yonna, obwenzi mu bufumbo buvuddeko ebintu ebingi omuli abakyala oba abasajja okuttibwa, obutabanguko mu maka, abaana okukosebwa, abamu babayiridde asidi, eby’obugagga okugenda n’ebizibu ebirala.
Wabula Ssenga Kawomera agamba nti omuntu yenna singa afuna omukyala oba omusajja, alina okwerekereza ebintu ebimu kuba sikyangu okufuna omuntu nga yenna atuukiridde.
Ssenga Kawomera agamba nti singa ofuna omuntu naye nga alinako byatakola, olina okuyamba okutereeza ensonga okusinga okudda mu bwenzi kuba kiyinza n’okuleeta obulwadde mu famire.

Vidiyo

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/345564977142847