Abatuuze b’e Ssanga mu ggoombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso, bawuninkiridde omu ku batuuze, Ssemaka Juma Kato bw’akattiddwa ne malaaya nga bali mu kusinga mukwano enkya ya leero.

Ssemaka Juma akedde kusibula mukyala we Jamirah abadde akedde okusuubula emmere ey’okutunda, kyokka omukyala abadde yakasibuula ku ssaawa nga 2 ez’okumakya, omu ku baneyiba mukwano gwe, amukubidde essimu nti bba, aliko omukyala, gwayingiza mu nnyumba.

Omukyala Jamirah, agenze okudda awaka, nga bba ali mu kaboozi ne Malaaya nga ne kappa y’ewaka bagisibidde ebweru eri mu kaaba.

Oluggi lumenyeddwa era malaaya asangiddwa ng’ali mu bute, okulwanagana ne kutandikirawo.

Ssemaka Juma asobodde okudduka kyokka malaaya mu kwewozaako agambye nti, omusajja yamukubidde essimu era abadde amusuubiza ssente 10,000 mu rawundi 3.

Malaaya agamba nti, Juma Kasitoma we emyaka egisukka 2 era abadde yakatambulako rawundi 2 kyokka mu kudduka, tamuwadde wadde 100 era asigadde amubanja ssente ze.

Malaaya wadde akubiddwa, ataasiddwa abatuuze era omukyala Nnyinimu asigadde yewunya bba, okuleeta malaaya mu nju yaabwe ate ku kitanda kyabwe ate nga n’ekiro, yasobodde okumuwa okulambula ebyalo, ekigenda okumulwaza obulwadde.