Eyaliko ssenkagale w’ekibiina ki FDC, Dr. Kizza Besigye akangudde ku ddoboozi ku ntekateeka ya Gavumenti ey’okusindikira abantu ssente 100,000 ku massimu gaabwe mu kiseera kino eky’omuggalo gwe nnaku 42.
Okusinzira ku Minisita w’ekikula ky’abantu, emirimu n’okulakulanya ebitundu Betty Among, ssente 100,000, abageenda okuzifuna, bagenda kuzeyambisa okufuna akawunga kkiro 20 ku shs 2,000 buli kkiro, ebijanjalo kkiro 10 nga buli kkiro ya 2,500, ssabuuni omuti gumu ku shs 3,000, buto lita 3 ku shs 4000 buli Lita, ate buli omu asigazeeko ssente 20,000 okwetusaako byeyetaaga.
Wabula Dr. Kizza Besigye yewunyiza abali mu kulowooleza Gavumenti n’okugiwa amagezi, nti ssente 100,000 ziyinza okuyamba abantu okwebezaawo.
Besigye mu kwogerako eri bannamawulire ku Katongo Road, agamba nti bangi ku bannansi bali mu mbeera mbi nga betaaga ensimbi okola ku bintu eby’enjawulo omuli n’okusasula ssente z’okupangisa amayumba, amazzi, amasanyalaze kyokka abali mu Gavumenti, balowooza kusindika mitwalo 10.
Mungeri y’emu agamba nti entekateeka embi, y’emu ku nsonga lwaki Gavumenti yazizza abantu ku muggalo.
Besigye agamba nti Gavumenti eremeddwa okulaga ekigenda okolebwawo singa bannansi, bagibwa kumuggalo era ebiriwo, biraga nti essaawa yonna bannansi balina okubazaayo, wadde ennaku 42 ziweddeko.
Agamba kekaseera, buli muntu okuyamba munne, okuvuunuka embeera eno.
Besigye yagatiddwako abakulembeze ab’enjawulo omuli Pulezidenti w’ekibiina ki FDC Patrick Obia Amuriat, Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, omubaka we Kiira era omwogezi w’ekibiina ki FDC Ibrahim Ssemujju Nganda ssaako n’abakulembeze abalala.
Ku lwa Bannakampala, Omuloodi Erias Lukwago abalabudde okusigala nga banoonya eky’okulya okutaasa obulamu nga ssente Gavumenti zeyasuubiza okusindika, bo ng’abakulembeze tebalina ssuubi.
Kabinenti, yakkirizza okusindikira abantu ssente 100,000, abetaaga okuyambibwa ku massimu gaabwe, nga batunuulidde amaka 501,107 mu Kampala n’ebitundu ebiriranyewo, ebibuga byonna ssaako ne Monicipaali ez’enjawulo.
Okusinzira ku ‘List’ y’abantu abagenda okuyambibwa, mwe muli abayimbi, bannakatemba, Polodyusa, aba bodaboda, baddereeva ba Sipensulo, abakola mu saluuni, abasomesa masomero g’obwannanyini ssaako n’abo abasomesa mu Gavumenti abatali ku musaala.
Abalala abagenda okufuna ku nsimbi mwe muli baddereeva ba Takisi, bbaasi, Bakondakita, ab’ebigaali, Ba gayidi ku siteegi mu Ppaaka ez’enjawulo, abatikka emiguggu, mu kikuubo, ba DJ, abakozi mu bbaala omuli ba weyita, Bawunsa, abakola mu ggiimu, Resitolanti, Bakanaabe abalongoosa emmotoka, abatunga ngatto, abatuunzi b’emmere ssaako n’abantu abalala.
Ebitundu ebigenda okufuna ku nsimbi mwe muli Ntebbe, Iganga, Jinja, Kampala, Kamuli, Kasese, Kisoro, Lugazi, Masaka Mityana, Njeru, Mukono ssaako n’ebintu ebirala.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/848924389359547