Taata akubye muwala we myaka 13, bw’amukutte ng’ali mu kaboozi n’omulenzi ali mu gy’obukulu 16.
Kigambibwa mu kiseera kino ng’abaana tebasoma basiiba waka olw’omuggalo gw’okulwanyisa Covid-19, abaana abato beyongedde okwettanira ebikolwa eby’obuseegu.
Wano mu Uganda, ebikolwa by’okusobya ku baana abato byeyongedde nga waliwo abaana abato abawala bangi abasobezeddwako omuli n’abalenzi kyokka Poliisi egamba nti kivudde mu kweyambisa biragalaragala omuli enjaga.

Kati no ku kyalo Bindawa mu ssaaza lye Katsina mu ggwanga lye Nigeria, wuuno taata akutte muwala we myaka 13 ng’ali mu kusinda mukwano n’omulenzi w’oku kyalo emanju wa kabuyonjo.
Taata agamba nti abadde agenze mu kabuyonjo kweyamba, kwe kuwulira amaloboozi g’abantu abali mu kikolwa era amangu ddala ng’omuzadde, asobodde okwanguwa, okwekeneenya ebigenda mu maaso.

Amaaso, gatuukidde ku muwala we ng’ali mu kikolwa kyokka omulenzi asobodde okudduka.
Amangu ddala, taata akutte muwala we ku mukono okutuuka mu nnyumba era abadde mukwambwe nnyo.
Omwana akubiddwa emiggo era taata amwogeza omulenzi gw’abadde naye mu kikolwa nga mwana wa ku kyalo.

Taata amukutte ali mu kaboozi wabula amukubye emiggo gibadde mingi ddala.

Ate wano mu Uganda, Poliisi ekutte abantu 4 mu disitulikiti y’e Dokolo ku misango gy’okutta omusajja myaka 42.
Omugenzi Patrick Oyuru abadde mutuuze ku kyalo Okwalongen mu disitulikiti y’e Dokolo.
Abakwate mwe muli Tonny Okello aged 30, Lameck Aman 27, Isaac Ojede 28 ne Jacob Ayok 19 nga bonna batuuze ku kyalo Ngami mu muluka gwe Aluti mu disitulikiti y’e Dokolo.

Abakwate kigambibwa baakubye Oyuru olw’obutakaanya nga balwanira omwenge era yafiiridde mu ddwaaliro lya Dokolo HC IV gye yatwaliddwa ng’ali mu mbeera mbi okufuna obujanjabi.

Jimmy Patrick Okema, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye North Kyoga agambye nti abakwate bali ku misango gy’okutta omuntu.
Mungeri y’emu asabye abatuuze okuwa Poliisi omukisa okukwasisa amateeka okusinga okutwalira amateeka mu ngalo.
Abakwate bali ku kitebe kya Poliisi e Dokolo nga Poliisi bw’enoonyereza.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901