Gavumenti evuddeyo ku bigambibwa nti ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mulwadde ali mu mbeera mbi nga yafunye Covid-19.
Okuva sabiiti ewedde ebigambo, bibadde biyitingana ku mikutu migatta bantu nti Museveni yatwaliddwa mu ggwanga erya Germany ng’ali ku ssaala za Katonda, olw’embeera gye yabaddemu nga n’okussa, atandiise okufuna obuzibu.
Wabula akawungeezi ka leero, Minisita w’amawulire, Tekinologye n’okulugamya eggwanga Dr. Chris Baryomunsi alabudde bannayuganda okomya, okweyambisa emikutu migatta, mu kutambuza obulimba.
Dr. Baryomunsi mu kwogerako eri bannamawulire ku Media Centre mu Kampala, agamba nti kyewunyisa bannayuganda okutambuza amawulire nti Museveni mulwadde ate ng’ali kutambuza mirimu gy’aggwanga.
Agamba Museveni akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, yakubiriza Kabinenti eyatudde mu State House ate olunnaku olwaleero, era akedde kutambuza mirimu.
Dr. Baryomunsi agamba nti Museveni ali mu mbeera nungi ddala.
Ate mu kiseera kino nga Bannayuganda abakoseddwa olw’omuggalo wakati mu kulwanyisa Covid-19, bakyalinda akasente 100,000 ku massimu gaabwe okubayisa mu mbeera no, Dr. Chris Baryomunsi ayongedde okuzzaamu bannayuganda essuubi.
Agamba nti bali mu kutekateeka essimu z’abantu abalina okufuna ensimbi ssaako n’amannya gaabwe era ku Lwokuna nga 8 omwezi guno ogwomusanvu, ku ssaawa 4 ez’okumakya, lwe bagenda okutongoza okusindikira abantu ensimbi.
Dr. Baryomunsi era agamba nti bannayuganda abawangalira mu byalo okuba n’enimiro nga basobola okulima emmere, y’emu ku nsonga lwaki tebagenda kubasindikira wadde 100.
Agamba nti bannakyalo, balina emmere okuyita mu kiseera kino eky’omuggalo.
Ate amaggye gasambaze ebyogerwa nti abasirikale baabwe, baabadde benyigidde mu kulya enguzi n’okuggyako abantu ensimbi, okubakkiriza okukola emirimu gyabwe wakati mu kulwanyisa Covid-19.
Olunnaku olw’eggulo ku Mmande, bannamagye basatu (3) bakwattiddwa omuli Odongo Oragi, Thomas Omagye ne Patrick Olinga ku bigambibwa nti waliwo owa bodaboda gwe bagyeko ssente, okumukiriza okutambuza abantu babiri (2) beyasangiddwa atiise mu disitulikiti y’e Busia.
Kigambibwa, aba bodaboda babadde bagibwako ssente wakati 10,000 ne 30,000 okubakkiriza okusigala nga basaabaza abantu.
Abatuuze nga bakulembeddwamu Godfrey Masasa mu ggoombolola y’e Masaba bagamba nti bannamaggye, baludde nga bateeka emisanvu mu kkubo mu ngeri emenya amateeka okugyako abantu ensimbi nga n’emmotoza ezimu zitambula nga zigibwako wakati ssente 50,000 ku 100,000.
Wabula omwogezi w’amaggye mu bitundu bye Elgon, Jude Wandera, ayogeddeko naffe ku lukomo lw’essimu ku nsonga za bannamaggye abo, abaakwatiddwa era agamba nti okunoonyereza kutandikiddewo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/420226605733119