Ssentebbe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alangiridde olutalo ku bantu abegumbulidde okutambuza amawulire ag’obulimba nga beyambisa emikutu migatta bantu.
Museveni agamba nti yewunya, abali mu kutambuza amawulire nti mulwadde nga n’abamu bagamba nti yafudde, nga beyambisa emikutu migatta bantu.
Bw’abadde ayogerako eri eggwanga ku kisaawe e Kololo, nga Baminisita abaali basigaddeyo bakomekereza okuba ebirayiro byabwe, agambye nti kati ye ssaawa okuteeka amaanyi mu kulwanyisa abantu webatyo.
Museveni asuubiza okweyambisa ebitongole by’okwerinda mu kunoonya abantu bonna abali mu kutambuza amawulire ag’obulimba nga n’abo abali mu nsi z’ebweru, tewali kubattira ku liiso, “Another problem we need to solve is fake news, especially on social media. the social media has apparently been saying Museveni is dead. The Security service needs to apprehend the perpetrators who told such a story“.
Okuva sabiiti ewedde ebigambo, bibadde biyitingana ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa Face Book nti Pulezidenti Museveni yatwaliddwa mu ggwanga erya Germany ng’ali mu mbeera mbi, nga yafunye Covid-19 era mbu yabadde alina obuzibu mu kussa.
Abalala nga bagamba nti yatwaliddwa mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi mu ddwaaliro lya Nairobi Hospital nga mulwadde muyi wabula Museveni agamba nti kati ye ssaawa, okulwanyisa abantu ng’abo.
Vidiyo
Kyaddaki gavumenti etandiise eddimu ly’okusindikira abantu ssente 100,000, abakoseddwa olw’omuggalo gwa Covid-19 ogw’ennaku 42.
Omukolo gw’okusindikira abantu ssente, gukulembeddwamu ssaabaminisita Robinah Nabbanja ku offiisi ze mu Kampala, era ku bantu bonna abalinze ssente, owa Bodaboda Godfrey Oloya nga mutuuze mu disitulikiti y’e Gulu, yasoose okufuna ssente 100,000.
Oluvanyuma lw’okusindika ssente, Nabbanja, akubidde Oloya essimu, okakasa nti ye muntu omutuufu agwanidde okufuna ensimbi.
Oloya olukutte essimu wakati mu ssanyu, Nabbanja afunye akamwenyumwenyu ku matama ssaako n’abakozi mu offiisi ye.
Nabbanja ayongedde okujjukiza bannayuganda abagenda okufuna ku ssente ezo 100,000 nti ssente za mmere wabula si kunywa mwenge.

Agamba nti entekateeka etandiise era n’abo, abatafunye olunnaku olwaleero, essaawa yonna, ssente zigenda kutuuka.
Olunnaku olwaleero, bannayuganda 126, 552 bebasindikidde ku ssente.
Ate omuteesiteesi omukulu mu Minisitule y’ekikula ky’abantu Kibenge Aggrey agamba nti okwekeneenya amannya g’abantu abasindikiddwa, essimu zaabwe y’emu ku nsonga lwaki omulimu gutwala akaseera.
Kibenge asabye bannayuganda okwesiga minisitule yaabwe kuba buli muntu eyawandisiddwa, bagenda kumusindikira ssente.
Gavumenti esobodde okweyambisa Post Bank Uganda ne Kkampuni z’amassimu omuli MTN ne Airtel okusindikira abantu ssente.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901