Poliisi mu disitulikiti y’e Iganga ekutte omusajja ku misango gy’okuyingirira abatuuze, nakwata vidiyo nga bali kunaaba oba nga beyambudde ssaako n’abamu, nga bali kusinda mukwano wamu n’okuba ebifaananyi.
Omusajja akwattiddwa mutuuze ku kyalo Nkatu Proper mu ggoombolola y’e Iganga Northern mu Monicipaali y’e Iganga.
Ku Poliisi, omusajja agamba nti alina omukyala kyokka okufuna obwagazi n’okubaako kyakola mu nsonga z’omu kisenge, yetaaga vidiyo n’ebifaananyi gw’ayinza okulabira mu ssimu ye.
Agamba ebifaananyi mu ssimu ye ssaako ne Vidiyo, zabadde akwata mu bantu ab’enjawulo, abadde azeyambisa, okumutekateeka okwerigomba ne mukyala we.
Muganda wa w’omusajja akwattiddwa Muzamiru Ndoga, agamba nti muganda we akwattiddwa nga kivudde ku batuuze okweyongera okwemulugunya nti asukkiridde okwekweka nakwata vidiyo, nga bali bwereere.
Okukwatibwa, yabadde agenze kukwata vidiyo ya muganda we bwe yabadde agenda okunaaba era amangu ddala Poliisi yayitiddwa, okutaasa abatuuze okumutta.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Busoga East, James Mubi agamba nti ssemaka akwattiddwa ali mu gy’obukulu 25 era akuumibwa ku kitebe kya Poliisi e Iganga.
Mungeri y’emu agamba nti mu ssimu ye, eya ‘Smart Phone’ musangiddwamu ebifaananyi ne vidiyo ez’enjawulo ez’abakyala ab’enjawulo, beyakwata nga bali bute, okumuyambako okufuna obwagazi.
Ate Poliisi y’e Kwania ekutte omusajja omu ku misango gy’okutta omusajja myaka 30.
Omugenzi Richard Olam abadde mutuuze ku kyalo Amia A mu ggoombolola y’e Aduku era asangiddwa ng’attiddwa enkya ya leero ku River Arocha wakati wa katawuni k’e Odeo ne Tawuni Kanso y’e Aduku ku luguudo lwe Apac – Lira.
Kigambibwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande, omugenzi ng’ali ne mukwano gwe Moses Emate bagenze mu Tawuni Kanso y’e Aduku okunywa omwenge era bazzeeyo bombi kyokka enkya ya leero Olam asangiddwa nga yattiddwa.
Abasirikale okuva ku kitebe kya Poliisi e Kwania basobodde okwekebejja ekifo kyonna era amangu ddala Emate akwattiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.
Omu ku basirikale agaanye okwatuukiriza amannya ge agambye nti omulambo gusangiddwako ebiwundu era ayinza okuba yakubiddwa ekintu ku mutwe.
Alfred Agura, akulira Poliisi y’e Aboko agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza.
Godfrey Ongom, ssentebe wa LC 2 agamba nti omulambo guwereddwa famire okuziika nga Poliisi bw’enoonya abatemu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901