Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kiyinda B mu ggoombolola y’e Busimbi mu Monicipaali y’e Mityana, omwana mwaka gumu ne myezi 8 bw’agudde mu kinnya kya Kazambi, bw’afiiridde.

Omwana Hassan Ssesanga agudde mu kinnya ffuuti 30 ekiri mu luggya okumpi n’oluggi.

Abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebe Solomon Bbosa basobodde okutetenkanya okuggya omwana mu kinnya kyokka webatuukidde mu ddwaaliro ng’amaze okufa.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala Racheal Kawala, agamba nti abazadde Fatuma Nakibuli ne Ssekate John wadde bafiiriddwa omwana, okusima ekinnya ne balemwa okukibikako, kikolwa kya bulagajjavu.

Kawala agamba nti okunoonyereza kutandikiddewo.
Ate Poliisi y’e Lubowa mu Monicipaali y’e Makindye-Ssabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso ekutte abantu babiri (2) ku misango gy’okubba ‘number plates’ ku mmotoka.
Abakwate kuliko Brian Natamba ne Saul Katushabe era baakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, abakwate baakulembeddemu abasirikale okubatwala gye bakweka ‘number plates’ era wasangiddwayo 46.

Owoyesigyire agamba nti abakwate baludde nga batigomya abatuuze mu bitundu bye Lubowa, Zzana, Bunamwaya, Katale, Bukwenda, Seguku ne Nalumunye.
Agamba nti abakwate batwala ‘number plates’ okuva ku mmotoka ez’enjawulo n’ekigendererwa eky’okusaba ssente.
Mungeri y’emu Poliisi egamba nti abakwate, babadde bakava mu kkomera era ku misango gye gimu.
Hakim Mubiru, omutuuze we Seguku agamba nti ababbi, basaba ssente wakati shs 100,000 – 200,000 okukomyawo ‘number plate’ yonna.
Emmundu eyali yabibwa ku musirikale w’ekitongole ky’amakkomera nga 4, omwezi guno Ogwomusanvu, ezuuliddwa mu kikwekweeto ekikoleddwa Poliisi y’e Iganga nga yegatiddwako abatuuze.
Emmundu ekika kya AK 47 namba 565824458 AKM 40425 yagibwa ku musirikale w’ekitongole ky’amakkomera Iganga.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Busoga East Jame Mubi, emmundu yali amasasi 30 ku lunnaku lwe yatwalibwa kyokka okuzuulibwa, musangiddwamu amasasi 22.
Mubi agaanye okwatuukiriza amannya g’omuntu akwattiddwa era agamba nti aliko banne abaludde nga bateeka emisanvu mu kkubo mungeri emenya amateeka okubba abatuuze.
Omukwate atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi y’e Iganga nga Poliisi bw’enoonya banne, abaliira ku nsiko mu kiseera kino.
Mubi mungeri y’emu agamba nti omukwate ali ku misango gy’okusobya ku mwana omuto newankubadde kkooti yamukkiriza okweyimirirwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/172813018239465