Palamenti ezzeemu okulagira ebitongole ebikuuma ddembe okunoonya Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White akwattibwe ku misango gy’okukaka abawala akaboozi, okubattika embutto ssaako n’okubasindikiriza okuzigyamu.

Palamenti okuyisa ekiragiro, kidiridde amyuka ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Agnes Ttaka, okwanjula alipoota eraga ebyavudde mu kunoonyereza ku nsonga za Bryan White omwaka oguwedde ogwa 2020.

Okusinzira ku Lipoota, ebyavudde mu kunoonyereza biraga nti Bryan White alina kyabimanyiko era ateekeddwa okwewozaako.

Mungeri y’emu bagambye nti, bagezaako okukyalira Bryan White okumugyako sitetimenti ku nsonga ezimwogerwako mu makaage kyokka yasangiddwa ali mu mbeera mbi nga mulwadde era ng’asizza ku byuma.

Alipoota mu ngeri y’emu egambye nti n’abasirikale abaali ku Poliisi y’e Kabalagala mu kiseera nga Bryan White yenyigira mu kuzza ebikolobero, eragidde bakwattibwe ku bigambibwa nti bamuyambako era mu kiseera ekyo, yali tagambwako.

Related Stories
ENSI ENO! Kyaddaki abasawo boogedde amazima ku bulamu bwa Christian Eriksen, abazannyi ba Denmark bibasobedde

Christian Eriksen ayinza obutaddamu kusamba mupiira mu bulamu bwe n'eggwanga lya Italy okumuwera okuddamu okusambira Read more

Oluvanyuma lw’okusoma alipoota, Palamenti kwesinzidde okuyita Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odongo, okunyonyola ku bigambibwa nti abasirikale ku Poliisi e Kabalagala benyigira mu kuyambako Bryan White okuzza ebikolobero.

Ttaka agamba nti okunoonyereza, kulaga nti Bryan White musajja mukyamu nnyo era okumunoonya kutandikiddewo, akwattibwe, yewozeeko.

Bryan White ali ku misango gy’okudda ku baali abakozi be omuli abawala Stella Ndawula, Vivian Mutanda n’abalala okubasobyako n’okubasindikiriza okugyamu embutto wakati wa 2017 ne 2019.

Ate abazigu balumbye ekyalo kye Nalugamba, mu gombolola ye Malangala mu disitulikiti y’e Mityana ku ssaawa nga 8 ez’ekiro nga bagala okubba enkoko, embuzzi, ente ssaako n’ebintu ebirala.
Abazigu bano balumbye ffaamu y’omukyala Nantongo Reste emanyikiddwa nga Rena Agro Send Limited nga bali 3 wabula ekirungi, omu akwattiddwa.
Ababbi balumbye nti balina ennyondo, Emisuumeni, Ensuluulu ssaako n’ebintu ebirala.
Omu ku bakozi, Ntale Frank agamba nti omukuumi wa ffaamu Arearia Robert, yasobodde okuyamba omu ku babbi okukwattibwa era oluvanyuma yakubidde Poliisi essimu.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala, Racheal Kawala agambye nti Poliisi ekutte abantu 3 bagiyambeko mu kunnoonyereza omuli omubbi, omukuumi ssaako ne Manejja wa ffaamu.

Okufuna ebirala – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/214935263429487