Kyaddaki Poliisi, etutte mu kkooti Wampa Huzaifa amanyikiddwa nga Kanaabe, eyakwattiddwa ku misango gy’okutta abantu ssaako n’okwenyigira mu kubba.

Kanaabe myaka 30 eyali memba wa Bodaboda 2010 yakwattiddwa ku kyalo Kikomeko mu Katawuni k’e Kalule mu ggoombolola y’e Nyimbwa mu disitulikiti y’e Luweero, mu kikwekweeto ekyakoleddwa okunoonya, abatemu abakola obulumbaganyi ku Minisita w’emirimu Gen. Katumba Wamala.

Kanaabe nga bamutuusa ku kkooti

Okusinzira ku Poliisi, Kanaabe yali ku Pikipiki eyali evugibwa Walusimbi Kamada amanyikiddwa nga Mudinka era y’omu ku bawandagaza amasasi mu kulumba Gen. Katumba nga 1, omwezi oguwedde Ogwomukaaga.

Wadde Gen. Katumba eyaduumirako amaggye ne Poliisi yasimatuka okuttibwa, bamukwammundu batta muwala we Nantongo Brendah ssaako ne Ddereeva we Haruna Kayondo.

Wabula mu kkooti e Nakawa, enkya ya leero, Kanaabe atuusiddwa wakati mu byokwerinda era bw’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Douglas Singiza, aguddwako emisango mukaaga (6), Okuli omusango gumu gw’obutujju, emisango 2 egy’obutemu n’emisango 3 egy’okwagala okutta abantu.

Kanaabe mu kkooti

Olw’okuba emisango gye gyanagomola nga giteekeddwa kuwulirwa kkooti nkulu yokka, Kanaabe asindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 3, omwezi ogujja Ogwomunaana, 2021 okusobozesa oludda oluwaabi okufundikira okunoonyereza.

Kanaabe yegasse ku bantu musanvu (7) abali ku limanda mu kkomera e Kitalya ku omusango gumu (1) ogw’obutujju, emisango 2 egy’obutemu n’emisango 2 egy’okwagala okutta abantu.

Wabula bannamateeka be nga bakulembeddwamu Anthony Wameli bagamba nti Kanaabe, yatulugunyiziddwa ng’ali mu kaduukulu k’ebitongole ebikuuma ddembe, omulamuzi kwe kulagira ekitongole ky’amakkomera okumuwa obujanjabi ate mu bwangu ddala.

Kanaabe wakati mu byokwerinda

Bwe yabadde agibwako sitetimenti ku Poliisi, yakkirizza nti nti baludde nga benyigira mu kutta abantu ab’enjawulo abasukka 14 omuli Major Muhammad Kiguundu n’omukuumi we Sgt. Stephen Mukasa mu 2016, eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga  Andrew Felix Kaweesi n’eyali omukuumi we Cpl. Erau Kenneth ne ddereeva we Cpl. Godfrey Mambewa mu 2017.

Mungeri y’emu okutta abasirikale Mubiru Hussein, Kalungi Moses, okulumba Cheap Hardware e Nansana ne batta abantu n’okutwala ssente ezisukka mu bukadde 300, okulumba amadduka ag’enjawulo ne batta n’okutwala ssente, okulumba Gen. Katumba Wamala ssaako n’abantu abalala.

Kanaabe nga bamuyingiza mu kkooti

Wabula Poliisi egamba nti obwanga kati yabwolekezza ku Ssabatemu, abadde akulemberamu okupanga n’okutta abantu Sheikh Abu Ubaida Badir Diin Bukenya nga kigambibwa ayinza okuba akyali mu Uganda oba nga yaddukidde mu ggwanga erya Congo.

Mungeri y’emu Poliisi egamba nti abatemu, abakwattiddwa omuli n’abattiddwa, baludde nga babulabe mu bitundu omuli Nansana, Katooke, Matugga, Maganjo, Namuwongo ne Kalule-Bombo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/363007402002189