Kkooti enkulu mu Kampala eragidde abantu bonna abaakwatiddwa ku by’okulumba Minisita w’emirimu Gen. Katumba Wamala okubatwala mangu mu kkooti.

Gen. Katumba, yalumbibwa nga 1, omwezi oguwedde Ogwomukaaga e Kisaasi mu Divizoni y’e Nakawa mu Kampala, era bamukwatammundu batta muwala we Brendah Nantongo, Ddereeve we Haruna Kayondo ate ye, yasimatuka kyokka yali akubiddwa amasasi mu mikono.

Wabula ebitongole ebikuuma ddembe wakati mu kwongera amaanyi mu kunoonya abatemu, Sabiiti ewedde, we yaggweereddeko ng’amyuka omuddumizi wa Poliisi mu ggwanga, munnamaggye kkomando Maj Gen. Paul Lokech agamba nti bakatta abantu babiri (2) omuli Mustafa Kawawa Ramadhan ne Hussein Lubwama eyabadde yeeyita ‘Masater’.

Mustafa yattiddwa bwe yabadde agezaako okudduka ku basirikale nga bagenze okuzuula  emmundu okuva mu maka ga Juma Seid e Kanyogoga mu Divizoni y’e Makindye ate Master, yattiddwa bwe yabadde agezaako okulwanyisa abasirikale nga bageenze okumukwata.

Lokech agamba nti balina abakwate abali ku misango gy’obutemu era ebitongole ebikuuma ddembe bikyanoonyereza.

Wabula Bannamateeka babakwate nga bakulembeddwamu Geoffrey Turyamusiima, baddukidde mu kkooti enkulu, okusaba abantu bonna abakwattiddwa, okutwalibwa mu kkooti.

Turyamusiima agamba nti Poliisi yakutte abantu be, abasukka 8 omuli Kamada Walusimbi, Siriman Kisambira amanyikiddwa nga Mukwasi, Juma Saidi, Taata Umar ssaako n’abalala.

Agamba nti wadde waliwo abattiddwa, betaaga emirambo gyabwe ate abakwattiddwa, batwalibwe mu kkooti.

Turyamusiima

Wabula omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Phillip Odoki alagidde ekitongole ekya Poliisi okutwala mu kkooti abantu bonna abakwattiddwa ku by’okulumba Gen. Katumba.

Omulamuzi agamba nti abakwate basuzizza essaawa 48, nga bali mu kaduukulu ka Poliisi, ekintu ekityoboola eddembe lyabwe.

Agamba singa tekikolebwa, okuwuliriza okusaba kw’okuyimbula abakwate kwakuwulirwa ku Mmande ya sabiiti ejja nga 12, omwezi guno Ogwomusanvu.

Poliisi egamba nti abatemu basibuka mu kabinja k’abatujju aka Allied Democratic Forces (ADF) era mukama waabwe Shiek Obadia yadduse nga mu kiseera kino ayinza okuba akyali mu Uganda oba nga yaddukidde mu ggwanga lya Democratic Republic of the Congo.

Poliisi era agamba nti akabinja k’abatujju kano, bebaakola obulumbaganyi ku Cheap Hard Ware e Nansana mu 2019 ne batta abantu basatu (3), okutta abantu ab’enjawulo omuli Maj. Muhammad Kiggundu e Masanafu mu 2016 ssaako n’abantu abalala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/3828579510587712