Omusajja eyakwatibwa ku misango gy’okulumya omwana, yetonze era agamba nti tayinza kuwa nsonga yonna lwaki yakikola.
Omusajja ono yakwattibwa nga 10, November, 2020 ku misango gy’okusonseka olugalo mu bitundu by’ekyama eby’omwana omuto myaka 5 mu ssaza lye Lagos mu kibuga Nigeria.
Mu November, omwana yasangibwa ng’avaamu omusaayi mu bitundu by’ekyama ng’ali mu maziga oluvanyuma lw’omusajja okweyambisa omukisa nga maama atambuddemu, okumukuba olugalo mu bitundu by’ekyama.
Maama eyali mu maziga, yaddukira mu ddwaaliro okutaasa omwana we kyokka wadde yafuna obujanjaba, yafuna obuzibu mu bitundu by’ekyama omuli amabwa.
Kigambibwa Poliisi yali egaanye okusiba omusajja okutuusa bannansi lwe bavaayo nga beyambisa omukutu ogwa Twitter, okuteeka ku nninga okunoonya omusajja era okusibwa.
Oluvanyuma Poliisi yayingira mu nsonga era omusajja yakwatibwa abitebye.
Wabula omusajja bwe yabadde ayogerako eri munnamawulire wa TV emu ku ziri mu ggwanga erya Nigeria, yasabye abazadde n’eggwanga okumusonyiwa.
Omusajja agamba nti wadde yakwatibwa, talina nsonga yonna lwaki yakuba omwana olugalo.
Agamba nti tanywa njaga wadde okukozesa ebintu byonna kyokka yali tatamidde nga tamanyi lwaki yakuba omwana olugalo.
Ate Pulezidenti w’eggwanga erya South Africa Cyril Ramaphosa agamba nti okwekalakaasa okwabadde mu ggwanga, kwabadde kuteeketeeke.
Okwekalakaasa kwavudde ku eyali omukulembeze w’eggwanga lyabwe Jacob Zuma okuva 2009 – 2018 okusibwa.
Abantu 212 battiddwa, abasukka 15,000 bali mu mikono gy’ebitongole ebikuuma ddembe.
Wabula Pulezidenti Ramaphosa bwe yabadde akyaddeko mu bitundu bye KwaZulu-Natal yagambye nti okwekalakaasa okwabadde kuteeketeeke era abakulu abakulembeddemu embeera yonna, Poliisi etandise okubanoonyerezaako.
Kkooti ya Ssemateeka ekulemberwa Omulamuzi Sisi Virginia Khampepe yasalidde Zuma okusibwa emyezi 15 ng’emulanga okuyisa olugaayu mu kakiiko akanoonyereza ku balyake mu South Africa, akakulirwa Amyuka Ssaabalamuzi Raymond Zondo nga 29, omwezi oguwedde Ogwomukaaga, 2021.
Wabula Zuma wadde yabadde alemeddeko obutasibwa, yapondoose neyewaayo eri ekitongole eky’amakkomera, ekyatabudde bannansi.
Mu kwekalakaasa, bannansi batutte ebintu eby’enjawulo omuli okumenya amadduka ne batwala engoye, ssente, eby’okulya n’okunywa, okutwala ATM, okubba ebisolo omuli embizzi n’ebintu ebirala.
Wabula Gavumenti egamba nti abantu bonna abenyigidde mu kubba ssente mu ATM, tebalina gye bagenda kweyambisa ssente ezo kuba kati zonna zaafudde, zitwalibwa nga ebicupuli era singa omuntu yenna asalawo okuzeyambisa, bagenda kumukwata.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901