Pulezidenti w’eggwanga erya South Africa Jacob Zuma, kyaddaki alekulidde obukulembeze w’eggwanga eryo, nga kivudde kazito okuva mu kibiina kye.

Jacob Zuma
Jacob Zuma

Zuma myaka 75, akulembedde eggwanga eryo, okuva nga 9, Mayi, 2009.
Bw’abadde eyogerako eri aggwanga agambye nti okulekulira akakiddwa nga kivudde kazito okuva mu bannakibiina kye ekya African National Congress (ANC) nga bonna, babadde bategese okumugyamu obwesigwa, olunnaku olwaleero nga 15, Febwali, 2018.
Jacob Zuma, bannakibiina babadde bamulumiriza okwenyigira mu kulya enguzi ate bannansi nga bagamba nti asukiridde, okudibaga ebyefuna by’eggwanga.