Abantu 13 bafiiriddewo, Tanka y’amafuta bw’eyabise n’enkwata omuliro nga bagezaako okubba amafuta ku kyalo Malanga ku luguudo oluva e Kisumu okudda e Busia mu ssaza lye Siaya mu ggwanga erya Kenya.

Emmotoka y’amafuta ebadde efunye akabenje.

Abantu abasukka 11 batwaliddwa mu ddwaaliro lya Gem mu ssaza lye Yala nga bali mu mbeera mbi.

Kigambibwa, abatuuze basobodde okweyambisa omukisa nga tewali Poliisi, okutandiika okuba amafuta mu mmotoka okutuusa ekimotoka bwe kikutte omuliro.

Emmotoka z’amafuta okugwa ne zikwata omuliro kyeyongedde mu Africa

Ate amasasi ganyose mu katawuni k’e Kasiiso mu kiro ekikeeseza lwaleero ng’ababbi banyaga owa Mobile Money omulala mu disitulikiti y’e Luweero.
Okusinzira ku Poliisi y’e Luweero, ababbi nga bakutte emmundu n’okusingira ddala eza Pisito, balumbye Mobile Monye ya Patrick Ssemwasi mu katawuni k’e Kasiiso mu ggoombolola y’e Butuntumula ku ssaawa 7:45pm bwe yabadde atekateeka okuggalawo, okudda awaka.

Isah Ssemwogerere, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Savannah agamba nti Ssemwasi yateekeddwa ku muddumu gw’emmundu ne bamulagira okusindika ssente zonna eziri ku ssimu ye ku ssimu zaabwe eziri mu bukadde 2. Mungeri ababbi batutte n’amassimu g’omungalo 36.

Ssemwogerere era agamba nti ababbi bawandagaza amasasi mu bbanga okugumbulula abatuuze oluvanyuma basobodde okweyambisa Pikipiki okudduka.

Isaac Wampamba, Kansala we ggoombolola y’e Butuntumula agamba nti abatuuze basobodde okukuba ababbi amayinja okubalemesa okudduka wabula ababbi okukuba amasasi mu bbanga kitiisizza abatuuze ne baddukira mu nju zaabwe.

Wampamba agamba nti mu kiseera ekyo, Poliisi yabaddeko omusirikale omu ng’abalala bagenze mu byalo okuteekesa mu nkola ebiragiro bya Kafyu.

Mungeri y’emu asabye Poliisi okwongera amaanyi mu kulawuna obudde bw’ekiro kuba mu wiiki emu, guno gubadde mulundi gwakubiri ng’ababbi batigomya abatuuze.

Sabiiti ewedde ku Ssande, ababbi balumba akatawuni k’e Kiwanula ne bakuba amasasi mu bbanga oluvanyuma ne babba Mobile Money ya David Kalungi, Kansala wa disitulikiti y’e Luweero.
Batwala ssente zonna ezaali ku ssimu ne ssente enkalu ezisukka mu bukadde 5.
Mu kiseera kino aba Mobile Money bakolera mu kutya mu disitulikiti y’e Luweero era abamu ku ssaawa 12 baggalawo amaduuka okwewala ababbi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/179452594168400