Kyaddaki Gavumenti ekkirizza nti abantu 4 battibwa mu kikwekweeto ekyakolebwa mu kunoonya, abatemu abakola obulumbaganyi ku minisita w’emirimu Gen. Katumba Wamala nga 1, omwezi oguwedde Ogwomukaaga 2021, kyokka wadde yasimatuuka okuttibwa ne batta muwala we Brendah Nantongo ssaako ne Ddereeve we Haruna Kayondo.

Mu kkooti enkulu mu maaso g’omulamuzi Musa Ssekana, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Johnson Natuhwera, lugamba nti abattibwa mwe muli Idris Serwadda amanyikiddwa nga Swakibu, Mustafa Kawawa Ramadan ng’abadde yeeyita Musa oba Amin, Juma Saidi ne Hussein Wahab Lubwama amanyikiddwa nga Christopher Kinene oba Master.

Gen. Katumba n’omugenzi Nantongo

Gavumenti okuvaayo, kiddiridde famire z’abantu abattibwa nga bakulembeddwamu munnamateeka waabwe Godfrey Tulyamusiima, okuddukira mu kkooti, nga basaba emirambo gy’abantu, gyabwe bwe kiba nga battibwa.

Wabula omulamuzi Ssekana awadde Gavumenti ku Lwokutaano nga 16, omwezi guno Ogwomusanvu, okuleeta satifiketi eziraga nti abantu abo, battibwa, ani yabatta ssaako n’okulaga gye batwala emirambo.

Wabula Gavumenti esambaze ebyogerwa nti waliwo omusibe amanyikiddwa nga Taata Sam ali mikono gy’ebitongole ebikuuma ddembe.

Bagamba mu kkomera tebalina muntu yenna, amanyikiddwa nga Taata Sam.

Ate Poliisi y’e Luweero, etandiise okunoonyereza ku kyaviiriddeko abantu 4 okufiira mu nnyumba, ekirese abatuuze nga bali mu kiyongobero.

Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku kyalo Kiyana mu Tawuni Kanso y’e Ndejje, abantu 4 okuli ssemaka Abdul Ssesanga myaka 60, mukyala we Hamidah Nansamba nga naye ali mu gy’obukulu 60, ssaako n’abazukkulu Fatumah Nalwadda myaka 8 ne Tugume George myaka 5, basaangiddwa nga z’embuyaga ezikunta.

Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Hamza Yusuf, baneyiba baasobodde okutegeeza ku bakulembeze ssaako ne Poliisi oluvanyuma lw’ennaku 2 ng’abagenzi tebalabwako okuva akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano.

Ssentebe agamba nti ssemaka Ssesanga yakutukidde okumpi n’oluggi, ekiraga nti yabadde agezaako okuyita obuyambi ate omukyala ssaako n’abazukkulu, basaangiddwa mu ddiiro.

Abatuuze, bagamba nti famire eyinza okuba yaweereddwa obutwa akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano.

Wabula Isah Ssemwogerere, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah agamba nti emirambo gyonna gitwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa, okuzuula ekyavuddeko famire yonna okufa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901