Ekitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi kikedde mu ddukadduka n’abasuubuzi mu Kampala, abeyongedde obungi mu kiseera kino eky’omuggalo, ekiyinza okutambuza Covid-19.
Abasuubuzi n’abatembeyi batunda ebintu ebyenjawulo omuli emmere, okutambuza amenvu, okutunda masiki, mulimu abatunda engoye, okusiba enviri, bodaboda zeyongedde okutambuza abantu, emmotoka z’obwannanyini zeyongedde ssaako n’abantu abatambuza ebigere.
Wabula Poliisi egamba nti omuggalo, ogw’ennaku 42 gusigazaako ennaku 9, kyokka ekyewunyisa abantu beyongedde mu Kampala era y’emu ku nsonga lwaki bakedde kubasindikiriza okudda awaka.
Mu kikwekweeto, waliwo abakwattiddwa ate aba bodaboda bagobeddwa mu kibuga ate abasangiddwa nga basaabaza abantu abakwattiddwa.




Bya Nalule Aminah