Wuuno Osas Ighodaro omwolesi w’emisono afuuse ensonga ku myaka 30 egy’obukulu.

Osas agamba nti yazaalibwa nga 26, October, 1990 e Bronx, New York mu ggwanga erya America kyokka mwana okuva mu ggwanga lye Nigeria.

Mu 2010, yawangulwa obwa Nnalulungi Omudugavu mu America (Miss Black USA Pageant) ate mu 2014, y’omu ku baali ba ‘MC’ mu Awards za Africa Magic Viewers Choice.

Osas bwe yabadde ku Boti Falls mu ggwanga erya Ghana yakubye amazzi era bangi ku basajja abaabadde okumpi naye, kigambibwa yabalese basabbaladde.

Mu ngeri y’okulumya n’okulaga nti ye wanjawulo nnyo mu kwolesa ekitone, obwedda akuba amazzi ng’akutte ku mpale, mu ngeri y’okunyumirwa obulamu.

Ebifaananyi