Omukyala atabukidde bba oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti alina omukyala omulala ku kyalo.
Kigambibwa omusajja yavudde awaka kyokka mukyala we kwe kufuna amawulire nti bba ali n’omukyala omulala era bali mu kaboozi.
Ng’omukyala omulala yenna yavudde mu mbeera kwekusalawo okunoonya bba.
Omukyala agamba nti bba buli kiro yebuzabuza ku nsonga z’omu kisenge era singa banyumya akaboozi, alemwa n’okumutuusa ku ntikko.
Bba amusanze ne mikwano gye era kigambibwa abadde yakava mu kaboozi n’omukyala omulala wabula okulwana kutandikiddewo.
Omukyala akubye bba ebikonde, empi ssaako n’ensambaggere nga yebuuza lwaki bba ayinza okwenda.
Embeera eno, kigambibwa ebadde mu ggwanga erya Kenya.
Wabula abamu ku bantu ku mikutu migatta bantu bagamba nti enneyisa y’omukyala eyinza okuba emu ku nsonga lwaki omusajja ayinza okwenda.
Vidiyo
Ate mu ggwanga erya Tanzania, omukulembeze w’eggwanga eryo Samia Suluhu Hassan myaka 61 alabudde bannansi okuggya omuzannyo mu kulwanyisa Covid-19.
Suluhu enkya ya leero afunye ddoozi y’eddagala lya Covid-19 era agamba nti Tanzania teri ku kazinga, essaawa yonna Covid-19 ayinza okusaasanira eggwanga lyonna singa bannansi tebakomya omuzannyo, “We are not an island and that is why now we are starting vaccination“.

Suluhu agamba nti abantu okugemwa, kigenda kuyamba nnyo Tanzania okwegatta ku nsi endala mu kulwanyisa Covid-19.
Wabula wadde Suluhu avuddeyo mu lwatu okulwanyisa Covid-19, eyali Pulezidenti we Tanzania gwe yaddira mu bigere John Magufuli yagaana okukkiriza nti Tanzania erina Covid-19.
Magufuli wadde yali akoze bulungi mu kulakulanya Tanzania, yafa nga 17, Ogwokusatu, 2021 mu kibuga Dar es Salaam era yaziikibwa nga 26, Ogwokusatu, 2021.
Gye buvuddeko, Tanzania yafuna ddoozi za Johnson & Johnson okuva mu Covax era Pulezidenti Suluhu awanjagidde bannansi okujjumbira okugemebwa Covid-19.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/550061812791390