Kyaddaki Tanzania evuddeyo okutangaza ensi wakati mu kulwanyisa Covid-19 engeri eggwanga gy’erikoseddwamu.

Okusinzira ku biragiriddwa omukulembeze w’eggwanga eryo Samia Suluhu Hassan, bannansi 70 bali mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi era bali ku ‘oxygen’ olwa Covid-19.

Samia yakamala mu buyinza ennaku 100 era asinzidde mu kibuga Dar es Salaam mu kwogerako eri abakulira eby’amawulire ku mikutu egy’enjawulo mu ggwanga erya Tanzania.

Eyali omukulembeze w’eggwanga eryo John Magufuli eyafa mu Gwokusatu, yagenda okufa ng’amaze okutegeeza nti Tanzania tebalina Covid-19.

Tanzania, yakoma okutegeeza bannansi ebikwata ku Covid-19 mu Gwokutaano 2020 nga mu kiseera ekyo, yalina abalwadde 509, Magufuli nabiyimiriza.

Wabula Samia azzeemu okujjukiza bannansi okwongera okwekuuma nga bajjumbira okuteeka mu nkola ebintu byonna, ebiyinza okutambuza obulwadde.

Ebigambo bya Pulezidenti Samia ayongedde okunyiiza omuzimu gw’eyali mukama we Magufuli kuba yageenda okufa nga takkiriza nti ddala mu Tanzania mulimu Covid-19.