Poliisi eri mu kunoonya abavubuka abasukka 100, bannakibiina ki NUP, abaakola efujjo wiiki ewedde ne baggala amakkubo mu ngeri emenya amateeka.

Bano, baasiba emmotoka ku nkuluungo y’e Bwaise ne bayimiriza emmotoka ezimu eziva e Makerere, Wandegeya ne Nothern By-Pass nga balinda Pulezidenti w’ekibiina ki NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okuyitawo bwe yali agenda mu disitulikiti y’e Kiboga okwetaba mu kusaba n’okujjukira munnakibiina Ritah Nabukenya.

Kyagulanyi Ssentamu

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abavubuka baali basukka mu 100, nga bayambadde ebyalo ebimyufu ssaako ne byeru ne basiba emmotoka okumala eddakika eziwerako.

Wadde baali basukka 100, 2 Poliisi emaze okubakwata omuli Nganda Hakim myaka 21 ng’avuga Bodaboda Kyebando – Bujjuko ne Lubega MahadMutuuze Bbira – Namugongo, akola ku sundiro ly’amafuta.

Enanga agamba nti ekyakolebwa kimenya mateeka kuba si basirikale ba Tulafiki, era bonna banoonyezebwa.

Enanga agamba nti ekikolwa ekyo, kyavaako okutaataganya eby’entambula ssaako n’emirimu gy’abantu, ekintu ekimenya amateeka.

Agamba, bagenda kunoonya abantu bonna abaali mu kikolwa ekyo, bakwatibwe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=K3IuIGafOoU