Kyagulanyi akooye ejjoogo

Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) avuddemu omwasi ku nsonga z’okutwala abantu baabwe, abagambibwa nti batwalibwa ebitongole ebyokwerinda.

Kyagulanyi yabadde Kavule – Makerere ku kitebe kya NUP ku lunnaku Olwokutaano.

Yabadde mu kwaniriza abantu abasobodde okusala eddiiro okuva mu bibiina omuli National Resistance Movement (NRM), Uganda People’s Congress (UPC), Forum for Democratic Change (FDC) n’ebirala nga baavudde mu disitulikiti omuli Dokolo, Lira, ebitundu bya Kampala eby’enjawulo n’ebitundu ebirala.

Kyagulanyiagamba nti balina okubanja abantu baabwe okutuusa nga bonna bazuuliddwa oba okufuna emirambo gyabwe.

Agamba mu kiseera kino bali mu kubanja abantu 18 naye bannayuganda bangi bawambibwa.

Alemeddeko nti mu kubanja abantu baabwe, Ssaabaminisita Robinah Nabbanja alina okubawa ‘John Bosco Kibalama‘ eyawambibwa mu 2019 oluvanyuma lw’okutegeeza nti yakwatibwa era Gavumenti emulina ku by’okutta abasirikale e Mityana.

Kyagulanyi era asabye Gavumenti okomyawo wakiri emirambo gy’abantu baabwe kuba bayinza okuba battibwa.

Kyagulanyi asabye bannayuganda bonna okuvaayo mu kampeyini y’okubanja abantu baabwe.

Okuvaayo okubanja nga mu Palamenti, abakulembeze ku ludda oluvuganya bali mu kwekalakaasa olwa Gavumenti okutwala abantu baabwe.

Nga bakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya mu Palamenti Mathius Mpuuga Nsamba, bagamba nti teri kudda mu Palamenti okutuusa nga Gavumenti ekomezaawo abantu baabwe.

Wabula sipiika wa Palamenti Anita Among agamba nti singa bagaana okudda mu Palamenti okumala entuula 15 balina okufiirwa ebifo byabwe.

Kyagulanyi akooye ejjoogo

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=faaktnsgW2Y