Kkooti esookerwako e Nabweru ebadde ekubirizibwa omulamuzi Sarah Namusobya, asindise mu kkooti enkulu mu Kampala ewozesa bakalintalo, abantu 11, bannakibiina ki NUP, abaakwatibwa ku misango egy’enjawulo.

Abakwate, kigambibwa nga 7, May, 2023 mu zzooni ya Nabweru North e Nansana, bazza emisango egy’obutujju, webasangibwa nga baguze ebintu okugingirira bbomu.

Mu kkooti oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka basobodde okutegeeza omulamuzi nti bafundikidde okunoonyereza era asomye obujjulizi obw’enjawulo obugenda okwesigamwako omuli WhatsApp Group eya ‘Go Slow Bobi a Head’ gye bagamba nti yali yatandikibawo, okutekateeka bbomu.

Obujjulizi bulaga nti nga 8, May, 2023, baali bategese okwekalakaasa mu Kampala, nga baali bakola bbomu ez’okuba Poliisi singa egezaako okubalemesa.

Obujjulizi era bulaga nti Poliisi egenda okubakwata, yasobola okukuba amasasi mu bbanga wabula yazuula ebintu eby’enjawulo ebikozesebwa mu kujingirira bbomu omuli Batule, amanda, dduumu ssaako n’ebintu ebirala.

Okusinzira ku munnamateeka w’abasibe Malende Shamim, okwesigama ku WhatsApp Group, kyongedde okubatiisa nti Gavumenti yandikwata bangi ku bantu baabwe, abazze baggulawo WhatsApp Group ez’enjawulo nga zekuusa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).

Malende agamba nti balina esuubi okuwangula mu kkooti enkulu kuba abantu baabwe, tebalina misango gyonna.

Wabula wadde basindikiddwa mu kkooti enkulu, famire z’abasibe, basigadde bewunya, Gavumenti obutaswala, okuleeta obujjulizi obujingirire.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=YMrgtGMGiGc