Eby’okutta Kaweesi biwanvuye

Kkooti enkulu mu Kampala ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna eyongezaayo emisango egivunaanibwa abantu 7 abali ku misango gy’obutujju n’obutemu.

Abakwate bali ku misango gy’okutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi nga 17, March, 2017 n’omukuumi we Kenneth Erau ssaako ne ddereeva we Godfrey Mambewa e Kulambiro – Nakawa mu Kampala.

Omugenzi Kaweesi

Abakwate kuliko Abdulrashid Mbaziira, Hamza Higenyi, Shafiq Kasujja, Yusuf Mugerwa, Bruhan Balyejjusa, Joshua Kyambadde, Jibril Kalyango, Yusuf Nyanzi ne Shafiq Kasujja.

Bali ku misango egy’obutemu, okubbisa eryanyi, obutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju, okuba nga batujju mu kabinja ka Allied Democratic Forces ADF, nga byonna bimenya amateeka.

Mu kiseera kino Kasujja akyaliira ku nsiko nga yadduka oluvanyuma lwa kkooti okumukkiriza okweyimirirwa.

Omusango guli mu maaso g’omulamuzi Alice Komuhangi Khaukha era ayagala enjuyi zonna okusaawo okwewozaako kwazo mu buwandiike.

Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka lugamba nti bannamateeka babasibe omuli Ladislaus Rwakafuuzi ne David Kasadda bakyalemeddwa okusaamu okwewozaako kwabwe.

Mu kiseera kino Rwakafuuzi musajja mulwadde wabula Kasadda agamba nti wadde mulwadde, emirimu gye agikola bulungi nnyo.

Omulamuzi Komuhangi alagidde enjuyi zombi okusaamu okwewozaako kwabwe obutasukka nga 11, December, 2023.

Omusango gwongezeddwaayo okutuusa nga 4, March, 2024.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=FqpT8ILpvtU