Kyaddaki Gavumenti mu ggwanga erya Kenya evuddeyo ku by’okulemesa amyuka omukulembeze w’eggwanga William Kipchirchir Samoei Arap Ruto myaka 56 okuggya mu Uganda.
Ku Mmande ya wiiki eno nga 2, August, 2021, Ruto yaganiddwa okulinnya ennyonyi okuggya mu Uganda.
Okusinzira ku offiisi y’omukulembeze w’eggwanga n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bantu abafuluma ebweru w’eggwanga n’okuyingira munda, Ruto yabadde alina okufuna satifikeeti okuva eri mukama we era Pulezidenti w’eggwanga erya Kenya Uhuru Muigai Kenyatta myaka 59 emukkiriza okufuluma eggwanga.
Kigambibwa offiisi y’obwa Pulezidenti yafulumiza ekiragiro ekigaana Ruto okumala gafuluma eggwanga, okuggyako ng’afunye olukusa okuva eri mukama we Kenyatta era bagamba nti abadde atambula mu nsi ez’enjawulo mu ngeri etamanyiddwa.
Ruto agamba nti kyewunyisa okumusaba satifikeeti mu kiseera kino kyokka emyaka munaana (8) gy’amaze mu ntebe ng’amyuka Kenyatta tewali muntu yenna abadde agimusaba wadde ekitongole ekikuuma ddembe.
Wadde yaganiddwa okufuluma Kenya, emikwano gye musanvu (7) omuli ababaka ba Palamenti n’abasuubuzi bakkiriziddwa okulinya ennyonyi okuggya mu Uganda.
Mu Kenya, omumyuka wa Pulezidenti yenna okutambula, alina okufuna olukusa okuva eri Pulezidenti ate ababaka ba Palamenti balina okusaba sipiika wa Palamenti era y’emu ku nsonga lwaki yaganiddwa kyokka ababaka ba Palamenti bakkiriziddwa okufuluma eggwanga.
Abakugu mu by’okulondoola ensonga z’obufuzi bagamba nti Ruto, okuggya mu Uganda wadde ayinza okuba yabadde ali ku nsonga ze, tewali ngeri yonna Ambasadda wa Kenya mu Uganda gy’ayinza kulemwa kumwaniriza.
Bagamba Ambasadda wa Kenya okwaniriza Ruto, alina kweyambisa ssente ezikola mu offiisi ye okuva mu Gavumenti ye (Kenya), ekiraga nti alina okutegeezebwa mu butongole.
Kigambibwa yabadde alina kusooka mu ggwanga erya Tanzania kyokka bwe yabadde ku Wilson Airport mu kibuga Nairobi, yafunye essimu okuva mu ggwanga erya Tanzania nti ateekeddwa okufuna olukusa okuva eri mukama we Kenyatta kuba singa kimulema, Kenya esabye Tanzania obutagezaako kumwaniriza.
Bwe yagaaniddwa okugenda Tanzania, kwekusalawo okuggya mu Uganda kyokka era bwe yaganiddwa, oluvanyuma lwe ssaawa 5 ng’ali ku kisaawe, yapondoose kwe kuddayo awaka.
Ku kisaawe, yategeezeddwa nti ekiragiro ekisaba amyuka Pulezidenti okulaga satifikeeti okuva eri Pulezidenti bw’aba afuluma eggwanga, kyafulumye mu wiiki bbiri (2) eziyise era ku kisaawe nga balina okukiteeka mu nkola.
Ruto agamba nti mu Uganda yabadde ayagala kukola mirimu gye era yabadde aliko yinvesita gwe yabadde aleeta.
Wabula bannabyabufuzi mu Kenya ne Uganda bagamba nti ebyobufuzi wakati wa Kenyatta ne Ruto, y’emu ku nsonga lwaki yagaaniddwa okufuluma eggwanga.
Bagamba wadde Kenyatta amyukibwa Ruto, tebalima kambugu mu kiseera kino oluvanyuma lwa Kenyatta okusembeza Raila Amolo Odinga myaka 76 mu Gavumenti ye. Ebiriwo, biraga nti Ruto ayagala kwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2022.
Ebirala ebiva mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/4368884189844506