Kkooti enkulu mu Kampala, eragidde Gavumenti okusasula omubaka wa Monisipaali y’e Mityana Francis Zaake obukadde 75, olw’okumutulugunya ng’ali mu kaduukulu ka Poliisi.
Ekiragiro kiyisiddwa omulamuzi Esta Nambayo enkya ya leero, ekiwadde bannamateeka ba Zaake akamwenyumwenyu.
Zaake myaka 30 yakwatibwa mu Gwokusatu, 2020 ku misango gy’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okutambuza Covid-19 bwe yali yenyigidde mu kuwa abatuuze emmere mu Konsituwense y’e Mityana, oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuyimiriza engeri zonna, eziyinza okungaanya abantu.
Bwe yakwattibwa, kigambibwa yatulugunyizibwa omuli abasirikale okumukuba amaggulu, emikono, amaaaso ne kimukosa endaba ye.
Zaake yakuumibwa mu kaduukulu ka Poliisi e Mityana okumala ennaku 10 nga tewali kumutwala mu kkooti, oluvanyuma yatwalibwa ku kitebe kya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) e Mbuya, ne bamutwalako ku Special Investigations Unit e Kireka kyokka yali mu mbeera mbi era oluvanyuma yatwalibwa mu ddwaaliro lya Japan-Uganda Friendship e Naguru gye bamuggya okumutwala mu ddwaaliro e Kiruddu e Makindye.
Nga 29, April, 2020 yayimbulwa kakalu ka Poliisi kyokka nga 27, April, 2020, omulamuzi wa kkooti esookerwako e Nakawa yali ayisizza ekiragiro, Zaake okuyimbulwa mu bwangu ddala.
Zaake yatwalibwa mu kkooti esookerwako e Mityana kyokka omulamuzi yalagira ebitongole ebikuuma ddembe okumutwala mu ddwaaliro okufuna obujanjabi kuba yali ali mu mbeera mbi ng’ali mu bulumi.
Wabula Zaake ng’akulembeddwamu munnamateeka we Eron Kiiza, baddukira mu kkooti enkulu mu Kampala ne baloopa abasirikale munaana (8) ne Ssaabawolereza wa Gavumenti ku misango gy’okutyoboola eddembe lye.
Ku basirikale kwaliko addumira Poliisi mu bitundu bya Wamala Bob Kagarura, addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Mityana Alex Mwiine Elly Womanya eyali akulira okunoonyereza ku misango (Special Investigation Unit) e Mityana, Abel Kandiho, omuddumizi wa Chieftaincy of Military Intelligence. Abasirikale abalala kuliko Hamdan Twesigye ne Haruna Mulungi Nsamba n’abalala.
Wadde Gavumenti yasaba kkooti omusango ogwo gugobwe kuba Zaake yakwatibwa ku misango gy’okugyemera omukulembeze w’eggwanga ku nsonga y’okulwanyisa Covid-19 ate nga tewali yamutulugunya, omulamuzi abiwakanyiza.
Omulamuzi Nambayo agamba nti yasobodde okwekeneenya alipoota y’abasawo ne vidiyo eraga endabika ya Zaake nga tewali kubusabuusa kwonna, yamutulugunya.
Omulamuzi asobodde okweyambisa obujjulizi obuliwo, okulagira Gavumenti okusasula Zaake obukadde 75 olw’embeera eyamutusibwako.
Munnamateeka Kiiza agamba nti obuwanguzi bugenda kuyamba nnyo abasirikale mu bitongole ebikuuma ddembe okweddako, ku by’okutulugunya abantu abakwattiddwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1261928807598711